Omwoleso gwa Bride and Groom gwongeddwamu ebirungo n'obubadi obunyuma!

Mu bifo by’opulaaninga ogendamu omwezi guno, teekamu n’omwoleso gwa Vision Group ogwa Bride and Groom kubanga bw’oguvaako obeera odda ku wa ngatto!

Omwoleso gwa Bride and Groom gwongeddwamu ebirungo n'obubadi obunyuma!
By Grace Namatovu
Journalists @New Vision
#Bride and Groom #MMwoleso #Mugole #Bagole

Mu bifo by’opulaaninga okugendamu omwezi guno, teekamu n’omwoleso gwa Vision Group ogwa Bride and Groom kubanga bw’oguvaako obeera odda ku wa ngatto!

Ssenga Hamida ne Kojja Kevin.

Ssenga Hamida ne Kojja Kevin.

Omwoleso guno gwongeddwamu ebirungo n’ebinnonnoggo bingi omuli abayimbi, aboolesi okuli abakola gawuni ez’omulembe, amasuuti ga baami, wayini ow’ebbeeyi, kkeeki empoomu, abasumba, bassenga ne bakojja, mmenye ki ndeke ki?

Ekirowoozo  ky’obutajja mu mwoleso guno kigobere wala nga Paasita agoba emizimu mu bakkiriza kubanga nga June 23 okutuuka 25, kigenda kutokota si kisaanikire wali ku UMA multi Purpose Hall  e Lugogo okutandika n’essaawa 12:00 ez’olweggulo.

Omuyimbi CIndy waakubeerayo ne bandi ye.

Omuyimbi CIndy waakubeerayo ne bandi ye.

Omugole ateekateeka okuwasa oba okufumbirwa, jangu abasumba Beatrice ne Jeremy Byemanzi aba Worship Harvest e Gayaza bakuwe obukodyo bwonna obw’okuwangaaza obufumbo n’okubunyumirwa.

Kojja Kevin ne Ssenga Hamida bajja kubeerayo nnyo nga bakubuulira olulimi lw’omukwano lw’osaanye okukozesa mu kisenge ne munno obuteebowa nga mwakafumbiriganwa.

Aba Bake 4 me nabo gyebali nnyo.

Aba Bake 4 me nabo gyebali nnyo.

Mmwe abaludde mu bufumbo muli baakuweebwa obukodyo bwonna obw’okuzza omukwano gwammwe obuggya.

Mu balala abagenda okubeera mu mwoleso guno okugufuula ogw’enjawulo era omunyuvu kuliko baana balenzi abakuyimbira ennyimba ensendeekerevu ku mikolo aba Abeeka Band, Bake 4 Me Cakes, abayimbi kuliko Cindy, Kataleya ne Kandle, Aba Kampani Shoes and Bags Clinic abaddaabiriza engatto, Refine Skin and Body Clinic n’abalala bangi.

Omwoleso guno guwagiddwa aba Aquafina abakola amazzi amawoomu , Penny Bold Bridal, Uganda AirLines, Mestil, Fragolino, Twende Uganda, Southern Palms Beach Resort ne Alko Vintages abakukolera wayini ow’omulembe.