EKIBIINA kya Eddy Kenzo kye yakoze kyongedde okumusattiza bw’ayise olukiiko lw’abayimbi n’abatwala mu wooteeri emu ku lw’e Mityana bateme empenda ku ngeri gye basobola okumuyamba okukizza engulu.
Olukiiko luno lwe yayise ku Lwokuna lwetabiddwaamu abayimbi ab’enjawulo okwabadde; Lord Fred Ssebatta, Nina Roz, Lydia Jazmine, Grenade, Fik Fameica, Carol Nantongo, HansonBaliruno, Lord Bitem, Daddy Andre, Lady Mariam Tindatine,
Red Banton ssaako Khalifa ow’amataali ng’ono bakira agakuba nga bw’amuwaana
olw’okufaayo okugatta abayimbi.
Nga tannagenda Buyalaku lw’e Mityana gye yakubye olukiiko luno, Kenzo yasoose mu kafubo n’aba minisitule y’ekikula ky’abantu ng’eno yabaddeyo n’abamu ku bakulembeze mu Federation ye okwabadde Sheebah Karungi n’abalala.
Bino we bijjidde nga waliwo okusoomooza ku ntandikawo y’ekibiina kya Kenzo ng’abamu bagamba nti yakitandikawo mu bukyamu.
Abamu ku batali bamativu na ntandika ya kibiina kino ye King Saha eyategeezezza Bukedde nti, Kenzo bwe yamuyita ku wooteeri we baali bwe yatuuka n’alaba nga buli kimu bakitwala ku sipiidi n’alabawo obuzibu era n’abaviira. Kyokka ono Kenzo yamuzzeemu nti ekyatwala King Saha lwakuba yeesimbawo ku ky’obuwanika ne bamuwangula.
Olutalo olulala Kenzo lw’abadde nalwo ku Cindy akulira UMA ng’agamba (Cindy) nti, Kenzo ayingirira emirimu gye, tamanyi w’akoma. Kenzo bwe yabadde ayogerakoeri abaamawulire e Buyala ku Masheda Palm Resort gye yasisinkanidde bayimbi yabakakasizza nti, federation ye eriwo mu butuufu ng’ekigendererwa kye kya kugatta bayimbi n’okuggya ebyobufuzi mu mulimu gwabwe.
Bwe yabuuziddwa lwaki agamba okuggyamu ebyobufuzi ng’ate Palamenti gy’ayagala eyise etteeka lya copyright ya byabufuzi yazzeemu nti; ekizibu Dr. Hilderman eyatwala etteeka lino mu palamenti munnabyabufuzi awakanya gavumenti, so nga bo ebintu byabwe omuli n’etteeka lino balisuubira kuyisibwa gavumenti era gye babanja.
Yagambye nti ba Hilderman bwe baba be baleese etteeka lino baliyingizaamu ebyobufuzi ekiwanvuya embeera. Ku nsonga ya Dr. Tee okuba nga ye yasooka okuwandiisa Federation era nga Kenzo ne banne gye bandyegasseeko, yabuuzizza nti; Wagiraba wa gye yawandiisa, era yayita mu mitendera ki?
N’agamba nti; bw’aba ayagala alina kwegatta ku bo. Yabuuzizza nti, lwaki eyaabwe emala kuvaayo olwo ne Dr. Tee n’alyoka alaga nti naye alina gye yawandiisa mu2022?
Yagambye nti associations ezaggulwawo abamu ze beewaana nazo tezirina mulamwa kubanga abaaziggulawo baali babala kufuna ssente, wabula bbo bali ku bya ddala, era
baatandise okuzisengejja okulaba eziri ku mulamwa n’ezitali; n’agamba nti y’ensonga lwaki abamu bavuddeyo okuvumirira federation ye kubanga balaba eri ku kituufu. Abakuba ebituli mu federation ya Kenzo bagamba nti emitendera egyayitibwamu ng’ekolebwa tegyali mituufu kubanga terina bibiina (associations) z’etwala so nga ekiyimirizaawo federation ze zi ‘associations ez’enjawulo.
Engeri gy’apanze okuzza Federation ye engulu
KENZO ategese okuzzaamu federation ye amaanyi ng’aleeta abantu abakwatibwako myuziki omuli abayimbi, abawandiisi b’ennyimba n’abalala abakwatibwako nga bakola ‘associations’ ezibagatta olwo abayingize mu federation ye. Agenda kukwataganya n’abayimbi okuva mu bitundu eby’enjawulo omuli’ Greater Masaka, Western Uganda, Busoga, Teso, amasekkati n’abalala bakole associations ziyingire mu federation