Bya Sharon Nabasirye
OMUGOLE toteekeddwa kugenda ku mukolo na mbalabe wadde enkanyanya .
Aba Refine Skin and Body Clinic bazze kwolesa engeri omukyala bw'akuuma olususu ebbanga naddala ku kadde k’omukolo kubanga bangi bafuna embalabe olw’okufuna situleesi y’okutegeka omukolo ate 'make up' n'agaana okuvaayo olw’embalabe .
Bano bayooyoota ensusu za bagole nga baggyamu enfuufu mu bwenyi, amasavu agateetaagisa ,embalabe wamu n’enkanyanya mu bwenyi, olwo omugole n'aba n'akasusu nga ka bebi ku mukolo n’omukolo nga guwedde .
Bano bali mu mwoleso gwa Bride and Groom oguyinda kati e Lugogo. Bano basangibwa ku Forest Mall e Lugogo.