BRIDE AND GROOM: ‘Togenda ku mukolo na mbalabe’

OMUGOLE toteekeddwa kugenda ku mukolo na mbalabe wadde enkanyanya.

Dokita Chiraag Kotecha ng'akola ku kasitoma mu mwoleso gwa Bride and Groom oguyindira e Lugogo..
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#BRIDE AND GROOM #mbalabe #mukolo

Bya Sharon Nabasirye

OMUGOLE toteekeddwa kugenda ku mukolo na mbalabe wadde enkanyanya .

Aba Refine Skin and Body Clinic bazze kwolesa engeri omukyala bw'akuuma olususu ebbanga  naddala ku kadde k’omukolo kubanga bangi bafuna embalabe olw’okufuna situleesi y’okutegeka omukolo ate 'make up' n'agaana okuvaayo olw’embalabe .

Bano bayooyoota ensusu za bagole nga  baggyamu enfuufu mu bwenyi, amasavu agateetaagisa ,embalabe wamu n’enkanyanya mu bwenyi, olwo omugole n'aba n'akasusu nga ka bebi ku mukolo n’omukolo nga guwedde .

Bano bali mu mwoleso gwa Bride and Groom oguyinda kati e Lugogo. Bano basangibwa ku Forest Mall e Lugogo.