Bya Daphine Nakalyoowa Semakula
Cedric Lodge ne mukyala we wamu n'abalala bana bagguddwaako emisango gy'okwekobaana ne baluka olukwe lw'okubba n'okukusa ebitundu by'emibiri by’abantu ne babitunda mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo.
Cedric Lodge eyali Maneja w'eddwaaliro ly'abasawo erya Harvard Medical School bamulumiriza okubba ebitundu by'omubiri ku mirambo egiweebwayo n'abitunda mu nkukutu okumala emyaka etaano .
Okusinziira ku NBC Boston kigambibwa nti abaguzi baakkirizibwa maneja w'ekizimbe ky'abafu, Cedric Lodge okukebera emirambo n'okulonda ebitundu by'omubiri bye baagala okugula era n'abibaguza.
Abalala abaavunaanibwa kuliko: mukyala we, Denise Lodge n'abagambibwa okugula Katrina Maclean, Joshua Taylor, Mathew Lampi ne Jeremy Pauley.
Okusinziira ku kiwandiiko ky'omusango, Lodge yabba ebitundu by'omubiri bye yali asabye okuva mu ddwaaliro omuli: obwongo, olususu n'amagumba oluvannyuma n'abitwala mu maka ge e New Hampshire gye yabipangisa n'abiweereza abaguzi ng'ayita mu posita.

Katrina Maclean Ow'e Salem, Massachusetts, Ebimu Ku Bifaananyi By’akozesa Okulanga Bizinensi Ye.
Mu butongole, abavunaanibwa bagguddwaako emisango gy’okwekobaana ne bakola olukwe n'okutambuza ebitundu by'emibiri gy'abantu ebyabbibwa mu bitundu by'eggwanga eby’enjawulo era nga bwe gubasinga nga bayinza okusibwa emyaka 15 mu kkomera.
Munnamateeka wa Amerika, Gerard Karam yagambye nti, "Ebikolobero ebimu bizibu okutegeera. Ekisinga okwewuunyisa kwe kuba nti bangi ku baafiiridde wano beewaayo kyeyagalire ne bakkiriza emirambo gyabwe okukozesebwa okusomesa abasawo n'okutumbula ebya ssaayansi n'okuwonya. Eky'okuba nti bo Cedric Lodge n'ab'omu maka gaabwe baganyulwa mu linnya ly'amagoba kitukuba encukwe."
Cedric Lodge yagobwa mu ttendekero eryo nga May 6, 2023, ng'abakulembeze b'eddwaaliro lya Harvard Medical bagamba nti ebikolwa bye byali byakulya mu ttendekero lino lukwe. Lodge yali maneja wa morgue kumpi emyaka 30.
"Tuwulira bubi nnyo, kyesisiwaza era kirwaza ekintu nga kino okutuuka ku ttendekero lyaffe ,erimanyiddwae okuwonya n'okuweereza abalala," abakulira ettendekero lino bwe baawandiise mu kiwandiiko .

Jeremy Pauley
"Twennyamira nnyo olw'obulumi amawulire gano bwe gajja okuleeta eri ab'omu maka gaffe n'abaagalwa baffe aba Anatomical Donors, era HMS yeeyama okukolagana nabo mu kiseera kino ekizibu ennyo."
Joshua Taylor ow'e West Lawn, Pennsylvania, kigambibwa nti yaweereza Lodges ssente ezisoba mu doola 37,000 okuyitira mu PayPal, omu n'asasula doola 200 mu Denise Lodge olw'okufuna "obwongo."
Omu ku bavunaanibwa, Katrina Maclean, alina edduuka eriyitibwa Kat's Creepy Creations mu Peabody, Massachusetts, eryasalibwako nga banoonyayo ebitundu by’abantu bino mu March.
Ebiwandiiko bya kkooti biraga nti mu 2020, nti Maclean yagula amaaso abiri ku ddoola 600 n'asindika olususu lw'omuntu eri omusajja omu mu Pennsylvania.
Kat's Creepy Creations etunda ebintu ebitiisa era ng’ebiwandiiko ebiri ku mukutu gw'edduuka lino ogwa Instagram birimu ebifaananyi by'obuwangwa bw'abantu. Mu February 2020, kwaliko ebigambo bigamba nti, "Bw'oba oli mu bizinensi y'amagumba g'abuntu nkoonaako!"
Ng'oggyeeko emisango gy'okugula ebitundu by'omubiri, Maclean era avunaanibwa okusindika olususu lw'omuntu eri Jeremy Pauley ow'emyaka 41, ow'e Bloomsburg mu Pennsylvania.

Ebimu Ku Bintu Ebitali Bya Bulijjo Omuli N'obuwanga Bw'abantu Ebitundibwa Ku Kat's Creepy Creations.
Pauley yakwatibwa mu 2022 n’avunaanibwa n'emisango gy'okugula emirambo gy'abantu ku mukozi w'omu ddwaaliro ly'e Arkansas omuli n'abaana babiri abaazaalibwa nga tebannatuuka ne bafa abaali bagenda okwokebwa.
Instagram ya Pauley, okufaananako eya Maclean, erimu ebifaananyi by'emirambo gy'abantu mingi, gye yabadde alanga okutunda.
Kigambibwa nti ye ne Matthew Lampi ow'emyaka 52 ow'e East Bethel mu bukiikaddyo bwa Minnesota baagula n'okutunda ebintu ebyakolebwa mu bisigalira by'abantu ne bakyusa ssente ezisoba mu 100,000/-.
Wadde nga bangi baawuniikiridde nnyo olw'amawulire gano, tewali n'omu eyakosebwa okusinga ab'enganda z'abantu abaafa.
"Twawulira bubi nnyo . Tuli balwadde ," Paula Peltonovich, nga bazadde be bombi baawaayo emiramboi gyabwe bwe yategeezezza aba Harvard Medical ng'ayita mu Anatomical Gift Program. "Yagasseeko nti kino tekikkirizika Tewali bigambo."
Okusinziira ku The New York Post, kitaawe wa Peltonovich, Nicholas Pichowicz yafa mu 2019 ku myaka 87. Maama we Joan Pichowicz yafa mu March wa 2023 ku myaka 86.
Ebisigalira bya Nicholas bye bimu ku bbyakukusibwa ne bitundibwa kyokka Peltonovich ow'e Newton mu New Hampshire yagambye nti tekitegeerekeka oba emirambo gya nnyina gikyali mu ddwaaliro lya Harvard.
"Saagala bakwate ku maama wange," bwe yagambye. "Osobola okunenya? Buli kimu kikyamu." bwe yennyamidde.