Abagagga bannyogoze olw’okufa kwa Aponye

ABAGAGGA bannanyini bizimbe n’abasuubuzi abagundiivu mu Kampala, bannyogoze olwa munnaabwe Apollo Nyegamehe ‘Apony’ okufa mu ngeri y’ekibwatukira

Omugagga Kirumira
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAGAGGA bannanyini bizimbe n’abasuubuzi abagundiivu mu Kampala, bannyogoze olwa munnaabwe Apollo Nyegamehe ‘Apony’ okufa mu ngeri y’ekibwatukira. Apony abadde afunye ettutumu olw’engeri gye yavaayo n’abuutikira bagagga banne mu bbanga ttono mu kugugumula agazimbe aganene wakati mu kibulga.
Banne baamwewuunya gye yaggya ssente ne pulaani okuzimba akeedi ennene gye yatuuma L’APONYE MALL okubadde Mega Standard Super Market ebadde esinga obunene wakati mu kibuga kyokka afudde ekizimbe akitunze.
Ssentebe w’abagagga mu Kampala Godfrey Kirumira yagambye nti , munnaabwe abannyogozza nnyo. Yategeezezza nti Apollo abadde n’ebiti bingi mwe bamumanyidde. “Abadde alina ebizimbe, abadde musuubuzi, abadde mukwano gwabwe ate abadde azimbye eggwanga mu biti ebyenjawulo era atusadde nnyo”, Kirumira bwe yagambye.
Nnaggagga Francis Drake Lubega yategeezezza nti, abadde akola emirimu egizimba n’okukulaakulanya eggwanga. “Twatandika naye mpola nga tusuubula ebijanjaalo e Kabaale n’emirimu emirala era abadde annyamba n’okunnyimirizaawo ng’apa emirimu. Bw’akwata ttenda atuyita ne tukolera wamu era atusadde nnyo”, Lubega bwe yagambye.
Yannyonnyodde nti ye muntu eyatandikira ku ddaala erya wansi omuli n’okwetikka ebitereke kyokka n’akola nnyo n’agaggawala okutuuka ku ddaala kw’abadde. Nti abadde alina ebizimbe n’ebyobugagga ebyenjawulo mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu era asaana kujjukira nnyo olw’obuyiiya bw’abadde nabwo.
Kkampuni ze ezenjawulo zibadde ziyimiriddeko abantu bangi b’abadde awa emirimu n’okuliisa emmere ssaako abazimba era abantu ng’ono Apollo basaana okujjukira ennyo n’okukozesa ng’ekyokulabirako mu kugaggawaza bannansi.
Lubega yalaze nti awezezza emyaka egisoba mu 15 nga bamanyiganye ne Apollo era olumu abadde amuwola ku ssente mu ssaako yaabwe gye baatandikawo okweyamba okwongera okugaggawala.
Omwogezi w’ekibiina kya KACITA Issa Ssekitto yategeezezza nti Apony abadde takoma ku kukola busuubuzi bwokka kyokka abadde akola nabo okulwanyisa enkola embi ezinyigiriza mu kusasula omusolo.
Yagambye nti abadde amanyi eddaala lya wansi kwe yatandikira ng’abasuubuzi abalala abatannaba kutuuka kuzimba bizimbe mu kibuga era abadde awuliriza, n’okuyamba ku bapangisa.
Ssekito yategeezezza nti mu biseera bya COVID-19, abasuubuzi lwe baamala ebbanga nga tebakola, bonna yabayita n’atuula nabo ne bakkiriziganya era bangi tebaamusasula ssente yazibasonyiwa. Apollo nti abadde musajja atali wa butaala nga mugagga kyokka ng’oyinza n’okumulinnyako n’ogenda.
Nti yalwanirira abasuubuzi ba kasooli n’obuwunga nga Gavumenti ya South Sudan egaanye okubaliyirira era ne bamala ne baggusa olutalo.
Omugagga Omar Ssekamatte yategeezezza nti Apony abadde muyiiya atandikawo ebintu ebiwa bannansi emirimu era waliwo abagaggawadde nga bayitira ku ye.
Omugagga Mansoor Matovu ‘ Yanga’ yagambye nti abadde azimbye eggwanga mu nkola y’okugaba emirimu n’okuzimba ekibuga. Yategeezezza nti abakozi ababadde mu bizimbe bye, mu maduukaage ne mu mirimu gye egyenjawulo babadde bakulaakulanya eggwanga.
Mmeeya wa Kampala Central Salim Uhuru era nga naye musuubuzi yategeezezza nti bannyogoze nnyo olwa musuubuzi munnaabwe okubagendako abadde ayamba okugaba emirimu.
Aponye abadde alina kkampuni ezenjawulo omuli mmotoka ennenne ezitambuza ebyamaguzi, abadde asuubula sukaali, ebirime nga ebijanjaalo, kasoolo n’omuceere. Abadde alina amaduuka amanene, ebizimbe mu Kampala, abadde alina ffaamu, sitoowa z’ebyamaguzi mu Kampala n’ettaka mu ggwanga lyonna.
Omusuubuzi Muzamir Lwaga ku luguudo lwa William, yagambye nti Aponye yatandikira ku zzero ng’akola gwa kwetikka byamaguzi mwe yafuna obusente n’amala n’agenda ku Good Sheed we batundira sseminti.
Eyo gye yakwataganira n’abamu ku basuubuzi ne batandika okusuubula ebirime n’okugula ssukaali era n’akola sitoowa ku William Stree