Obulumi bw'oyitamu okufuna Pulaani y'ennyumba
Jul 09, 2023
TEWALI kintu kiruma ng’omuntu agenda okuzimba okutambula obwoya ne bumuggwa ku ntumbwe ng’ataddemu ne ssente nkumu, kyokka n’amala emyaka ng’agoba kupulaani y’ennyumba n’atagifuna.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
TEWALI kintu kiruma ng’omuntu agenda okuzimba okutambula obwoya ne bumuggwa ku ntumbwe ng’ataddemu ne ssente nkumu, kyokka n’amala emyaka ng’agoba ku
pulaani y’ennyumba n’atagifuna.
Embeera eno eviiriddeko abantu bangi okubbibwa kuba bwe balemwa mu butuufu beeyambisa bakayungirizi abawera ababawudiisa nga bwe basobola okubayamba. Etteeka erifuga eby’okuzimba erya The National Building Regulations and Building Standards Act ligaana omuntu yenna okuzimba, okubaako kyakyusa ku kizimbe, oba okukyusa enkozesa y’ekifo kyonna, okuggyako ng’amaze okufuna pulaani yaawo
okuva mu b’obuyinza.
Fred Sekabembe ow’e Busega agamba nti okufuna pulaani y’ennyumba okuva mu KCCA kukaluba ebitagambika.
Embeera eno yamuviirako okuzimba nga talina gwe yeebuuzizza era yenna owa KCCA amutuukirira ng’azimba gwabaako ky’akwatira nga bamuleka yeeyongerayo.
Mmeeya wa Kampala Central Division, Salim Uhuru agamba nti atalina ssente za kuwaayo mu nguzi takyasobola kufuna pulaani ya nnyumba mu bwangu kuba abakozi ba KCCA basobola okumutambuza n’atuuka n’abivaako. Uhuru agamba nti etteeka
liragira KCCA okuwa omuntu olukusa olumukkiriza okuzimba mu nnaku 30, kyokka abakozi ba Gavumenti bino tebabigoberera.
Okunoonyereza okwakolebwa ekitongole ekirondoola ebyokuzimba ekya National Building Review Board (NBRB) mu 2021 kwalaga nti ebizimbe 6 ku 100 byokka mu Kampala bye byalina pulaani eyayita mu mateeka. Minisita w’ebyenguudo, Katumba
Wamala bwe yabadde ku musomo ogukwatagana ku by’obuzimbi ogwategekeddwa KCCA ku Bat Valley Primary School gye buvuddeko yalaze obutali bumativu olw’engeri okufuna pulaani bwe kwafuuka kaweereege ng’eddya ly’obukadde. Katumba agamba nti embeera eno evaako abazimba okukola bye baagala nga kino kyakakasibwa okunoonyereza okwakolebwa aba NBRB ku bizimbe ebiwera 5,642 kwalaga nti
ebizimbe 22 ku 100 byokka bye byali bigoberedde amateeka.
Owa KCCA alondoola ebizimbe annyonnyodde ebitera okubalwisa
PETER Paul Wanyama avunaanyizibwa ku kulondoola ebizimbe mu KCCA yagambye nti azimba kimwetaagisa ennaku bbiri ku ssatu okufuna pulaani.
Kyokka obuzibu omulimu gw’okuyisa pulaani gwetabwamu ebitongole bingi ekiremesa omulimu okukolebwa mu nnaku 30 eziragibwa mu mateeka.
“Okugeza ekitongole ekivunaanyizibwa okukuuma obutonde bw’ensi ekya NEMA kigitwalira emyaka ebiri okufulumya satifikeeti. Kyokka buno bwonna obuvunaanyizibwa abantu babubalira ku KCCA” Wanyama bwe yagambye.
Yagambye nti waliwo n’abantu abawaayo pulaani nga zaakolebwa bubi nga kino kibeerawo ku pulaani eziwera ebitundu 60 ku 100. Kino kiva ku bakugu abalekera
bakyakayiga omulimu gw’okukuba pulaani. KCCA yatandika enkola y’okuwandiika amannya g’abakubi ba pulaani abakola omulimu mu ngeri ya gadibengalye era bazze bagaweereza mu bibiina ebigatta abakubi ba pulaani babonerezebwe.
Wanyama yasabye abantu okutegeeza ku bakulu mu KCCA nga babalwisizza ekisusse n’okuloopa ababasaba enguzi kuba kino tekikkirizibwa mu mateeka
agafuga ekitongole
No Comment