Amawulire

Yogaayoga Omumbejja Ssangalyambogo okufuna ddiguli

Sarah Katrina Ssangalyambogo awangudde ddiguli mu bya bizinensi okuva mu yunivaasite ya Nottingham e Bungereza.

Omulangira Kiweewa Crispin, Ssangalyambogo, Nnaabagereka Slyvia Naginda ne Nnaalinya Victoria Nkinzi ku matikkira..jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Daphine Semakula Nakalyoowa

Ku Mmande ng'Obuganda bwesunga okujaguza amatikkira ga Ssaabasajja ag'emyaka 30, ate ye Omumbejja  Sarah Katrina Ssangalyambogo atuleese essanyu bw'awangudde ddiguli mu Bungereza.

Omukolo guno gwakoleddwa Pulezidenti era omumyuka wa kansala, Polof. Shearer West, CBE.

Ssangalyambogo yatikkiddwa ddiguli mu ssaayansi  mu bukulembeze okuva mu Nottingham University Business School, e Bungereza ku Mmande  nga July 24, 2023 nga gwabadde ku David Ross Sports Village, University of Nottingham Park, Bungereza.

Maama we, Nnaabagereka Sylvia Nagginda yagambye nti: Ekituufu ekituyambye okutuuka ku buwanguzi bwe busobozi bwaffe okutumbula abalala, n’okubawa essuubi. Noolwekyo yasabye Ssangalyambogo akozese ebisaanyizo bye yafunye okuyamba ku bulamu bw'abalala: "Obuntubulamu y'engeri gye tubeeramu".

Bino byabadde ku kabaga  ke baamukoledde akaabadde e Corinthia, The Courtroom Whitehall mu kibuga London.

Omukolo guno gwasanyusizza ab'eŋŋanda n'emikwano ababadde mu bulamu bwa Ssangalyambogo okuva mu buto.

Ekirabo eky'enjawulo ekyavudde eri kitaawe, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II kyaweereddwa mukulu wa Ssangalyambogo, Nalinya (omumbejja) Victoria Nkinzi.

Omukolo guno gwetabiddwaako abagenyi abaakulembeddwaamu Nnaabagereka, Omulangira Crispin JJunju Kiweewa, Abalangira Victoria Nkinzi, Jade Nakato ne Jasmine Babirye. Abalala abaabaddewo kuliko Naava Kendra Nanziri, Catherine Doreen Bwete, Juliet Nakuya ne Venerable Dr Prince Daniel Kajumba, omubaka wa Kabaka mu Bungereza ne Ireland Ssaalongo Geoffrey Kibuuka n'omumyuka we, Rev Enock Kiyaga Mayanja,  Omukungu GW Kalanzi, Omutaka Nkalubo Richard (Musu) n'omukungu Edgar Kavuma. Ne Dana Inģabire eyakutte ebifaananyi ku mukolo guno.

Gemma Morgan-Jones, akulira emikolo gya kkampuni, ye yategekese omukulo okw’ekigungu guno ogwatebabyeko: Nnaabagereka, ababaka be n'abagenyi abalala abakiikirira yunivasite y'e Nottingham omuli: Prof. Dr Sarah Turner, Prof. Dr Natalie Moore, ne Prof Frederique Bouilheres.

Yunivasite y'e Nottingham nayo yategese ekijjulo ekyenjawulo  ku Brailsford Suite of Orchard Hotel eri Nnabagereka n'abantu be.

Nnaabagereka era yeebazizza abantu abaabadde mu bulamu bwa Ssangalyambogo okuva lwe yatandika okusoma okuli: ssenga we Cate Bwete, aba Kabuyes e Nairobi, ssenga Sarah Kiyingi, Barbara Mulwana-Kulubya, Maria Kiwanuka n'abalala bangi. 

Abalala ye: Ssenga Nalinnya Elizabeth Nakabiri ow'e Ssanga, Sylvia Kibaya, Ven. Dan Kajumba n'omusajja we omukulu Edgar Kavuma, Omukungu Rev Enock Kiyaga n'abalala.

Yeebazizza Ssangalyambogo olw'okubeera omwetoowaze n'okuwa abantu bonna ekitiibwa.

Ssangalyambogo yatandika okusoma ku Kampala Junior Academy, Kabira International School of Uganda kati eyitibwa Kampala International School, gye yava n'agenda mu Peponi School e Nairobi n'agenda mu siniya ye era oluvannyuma n'agenda ku Nottingham University okumala emyaka ena egiyise.

Naginda agamba nti Ssangalyambogo bwe yagenda e Bungereza, yali alaga nti asobola okubeera yekka kyokka kyaleetera bazadde be okweraliikirira.

Ssangalyambogo muwuzi mulungi nnyo era  awangudde emidaali mingi mu mpaka z'eggwanga n'ezeetabwamu ensi endala.

Yogaayoga Omumbejja Sarah Katrina Ssangalyambogo.!

Biggyiddwa ku mikutu egy'enjawulo.

 

Tags:
Omumbejja Sarah Katrina
ddiguli
Bungereza

Emboozi Ezifanagana