Bya Henry Kasomoko
OMUYIZI eyawanuse ku kalina n’akubawo omutwe ne gwatika ali mu mbeera mbi bamujjanjabira mu kasenge kaabayi ennyo (ICU) mu ddwaliro e Mulago.
Shaluwah Kunamanyire 20, muyizi wa S5 God’s Way High School e Maganjo. Nnyina w’omwana ono, Hadija Nakanwagi gwe twasanze e Mulago yategeezezza nti muwala we yagambye nti yagwa omwezi oguwedde June 22, 2023 n’azirika n’okutuusa kati ali mu kkoma.
Nakanwagi yagambye nti okutegeera ebituuse ku muwalawe, waliwo Oliver Tumusiime eyateeka obubaka ku mukutu gwa WhatsApp ogw’essomero ne balyoka bawondera okutuuka e Mulago ng’ali mu mbeera mbi. Wabula akkukkulumira ab’essomero nti tebamuyambye ku mbeera omwana gy’alimu so ng’amanyi nti obuzibu yabufunira ku ssomero.
Henry Kizito nnannyini ssomero yategeezezza nti omuyizi ono abadde akyali mupya ku ssomero ng’amaze wiiki bbiri ne kitundu kyokka ng’embeera ze ziraga alina ebimutawaanya. Baamuwa Omusomesa we ow’eddiini n’ayogera naye n’amutegeeza nti balina ebizibu okuva eka kubanga ennyumba yaabwe yakwata omuliro n’abazadde tebalina ssente.
Yamubudaabuda n’alowooza nti ateredde kyokka baali mu kisulo munda ne banne n’atandika okweyogeza yekka nga bw’akuba ebisenge ne bamusaba agende ayogereko n’omusawo w’essomero.
Olunaku olwazzeeko n’agenda ku kizimbe ky’akalina ku mwaliiro ne yeesiba akakaaya ku maaso n’aggyamu engatto n’aziteeka wabbali n’abuuka okugwa wabula yagudde ku mabaati g’ekizimbe ekiriraanyewo n’ayiringita okugwa wansi.
Hassan Atwine taata w’omwana bwe baamunnyonnyola ng’awulira tamatidde ebyatuuse ku mwana, yagenze ku poliisi e Kawempe n’aggulawo omusango ku SD. Ref. 19/16/07/2023 n’agisaba enoonyereze ku byatuuse ku muwalawe.
Abasawo baategeezezza abazadde nti omwana yakosebwa ku kiwanga era obwongo bwabadde butandise okuzimba. Baakamulongoosa emirundi esatu kubanga baakizuula ng’omusaayi gwali guyiise ku bwongo.
Kizito yategeezezza Bukedde nti kikyamu abazadde okugamba nti essomero teriyambye kubanga baakasasula sente eziri mu bukadde 20 okuyambako ku mwana okufuna obujjanjabi.
Nakanwagi yawanjagidde abazirakisa okubakwasizaako n’obajanjaba ku ssimu 0703045899.