Bya Samuel Tebuseeke
Wuuno Kazibwe Isreal Kitooke alondeddwa okubeera omwogezi w'Obwakabaka, okukunga abantu era ow'ebyamawulire.
Kazibwe ye yali akulira abavubuka n’ebyemizannyo mu Ssaza Kyaddondo mu 2019.
Kazibwe obudde buno abadde mu bukulembeze bw’abavubuka obw’oku ntikko mu bwakabaka bwa Buganda.
Kazibwe bw’abadde ayogera ne Bukedde ategeezeza nti musanyufu nnyo era amawulire agalabidde ku mutimbagano agenze okulaba nga abantu batandise okumukubira amasimu agamuyozaayoza.