EMPAKA z’okukuuma obutonde mu masomero ageetaba mu Green Schools Project, ziri ku mutendera gwa kusindana mu kukubaganya birowoozo era ng’amasomero gaweebwa emiramwa egy’enjawulo
nga gikwata ku butonde.
Mu Kampala Metropolitan Region empaka ezayindidde ku ssomero lya Kololo SS mwetabyemu amasomero 13, okwabadde: Lubugumu Jamia High School-Ndejje, Kisowera SS Mukono, St Kizito SS Bugoloobi, Entebbe Comprehensive SS, Kololo SS, St Peters Nsambya, Hope SS, Gayaza High School, Entebbe SS, Mengo SS, Grace High School, St Kizito Namugongo ne St Augustine Wakiso.

Abayizi Okuva Mu Hope High School, Bira Watoto
Buli ssomero lyabadde ne ttiimu bbiri era amasomero 13 gonna ageetabyemu awamu gaabadde gakola ttiimu 26.
EGIMU KU MIRAMWA EGYATEESEDDWAAKO
Ogwasoose gwabadde gugamba nti, “Obuveera n’obucupa busaanye buwerebwe mu ggwanga lyonna”.
Era nga abaabadde ku ludda oluwagira omulamwa baawadde ensonga okwabadde mu kifo ky’okubuwera babulekewo kubanga bangi abasobola okubukolamu ebintu ebirala eby’omugaso awamu n’obucupa.
Ekyetaagisa mu kifo ky’okubuwera basomese abantu okuva ku muntu owa wansi engeri gye bayinza okukuumamu obutonde bw’ensi nga bwe babukozesa ate bwe bamaliriza babukolemu eby’omugaso ebirala mwe basobola okufuna ssente ezibabeezaawo.
Kyokka bo abaabadde ku ludda oluwagira omulamwa baawadde ensonga zaabwe nga bagamba nti, singa obuveera buno bubeera buwereddwa eby’okukozesa ebirala bingi omuli obusawo bwe basobola okukola mu bipapula ate nga bino ne bw’obisuula tebirina we bikoseza ttaka ng’akaveera oba akacupa.
Bagambye tewali kyonoona butonde bwansi okusingira ddala ettaka nga buveera n’obucupa era bwe bubeera awantu bumalirawo ddala ebbanga ddene nga buli awo tewali kye bwongera ku ttaka okuggyako okulyonoona.
Era omulamwa guno gwagenze okuggwa ng’abasazi b’empaka bakkiriziganyizza nti, oluddaluwagira akaveera okusigalawo naye abantu babasomese bwe balina
okukakozesaamu ebintu ebirala n’obucupa be basinze.

Abamu Ku Bayizi Abeetabye Mu Mpaka, Bano Ba St Kizito Ss
OMULWAMWA GW’OKUKOMYA OKUSAANYAAWO EBIBIRA
Oludda oluwagira okubitema nga lugamba Uganda tesobola kubeerawo ng’abantu tebatemye bibira wabula ekisingako gavumenti erina okusomesa abantu nti, buli w’otema omuti olina okulekawo omulala omuto kituyambeko okusigala nga obutonde bw’ensi tubukuumye.
Ekirala ekikola obubi kwe kutemawo emiti gyonna omulundi gumu, ekisingako oli bw’aba asazeewo okugitema agiteme mu bitundutundu, egimu bwe gibagi kuze, nga waliwo emito nga waliwo n’emikulu ddala.
Baagambye n’ekirala ennamba ennene eya Bannayugandaeyimiriddewo ku kufumbisa nku n’amanda okuggyako nga gavumentiereeseew o enkola ka tugeze nga buli
maka okugawa ‘gaasi’ ow’obwereere oba okufumbira ku maanyi g’enjuba, naye ekitali ekyo Bannayugandat ebasobola kubeerawo awatali nku na manda.
Bo ababadde bawakanya omulamwa guno baagambye nti, ekivaako ekyeya kutema miti. Mukoka okukuluggusa ettaka byonna biva ku kusaanyaawo bibira.
Abatema ebibira bamalako n’ebisolo by’omu nsiko eddembe lyabyo ate nga tekikkirizibwa. Olumu n’omukka gwe tussa tegumala lwa kusaanyaawo bibira.
Omulamwa we gwaggwereddeko ng’abalamuzi b’empaka bakkaanyizza nti, oli bw’aba atemye omuti ateekewo omulala obutonde bw’ensi busigalewo.
OMULAMWA OGW’ABANTU OKUSINGA EBITONDE EBIRALA
Oludda olukiwakanya nga lugamba nti, obutonde n’ebitonde ebirala byaliwo nga n’omuntu tannatondebwa kubanga Katondabwe yali atonda omuntu gwe yasembyayo ekitegeeza nti, nabyo bya maanyi mu ngeri yaabyo.
Ekirala obutonde oba ebitondeebirala we bitali omuntu nayetasobola kubeerawo, ekitegeezanti, buli kimu kya mugaso mu ngeri yaakyo.
Ebintu bingi ebyebeezaawo nga n’omuntu talina kyabikolako nga ennyanja bw’esalawo okukala omuntu aba talina ky’ayinza kukolawo.
Wabula abakkiriziganyiza n’omulamwa ne bagamba nti, Obutonde weebuli kubanga omuntu abufaako buli wamu.
Katonda ekyamutondesa omuntu oluvannyuma era naye yakiraba nga omuntu y’asobola okubikulira. Ekisingako obukulu, omuntu kwe kukozesa obutonde buno ate nga bw’abutereeza awo ensi tejja kubonaabona era n’abasazi b’empaka kino kye baasibiddeko.
EMPAKA ZA KAMALIRIZO ZA MU AUGUST
Empaka zino zagenze okuggwa nga Mengo SS y’enywedde mu masomero amalala akendo n’eddirirwa Entebbe SS ate Gayaza High School ye yakutte ekyokusatu.
Nga gano ge gagenda okwetabamu mpaka ezi genda okwetabamu amasomero amalala agalondebwa okuva mu bitundu bya Uganda ebirala ez’akamalirizo ezijja okubeerawo mu mwezi gw’omunaana nga guggwaako era ku Kololo SS.
Omugenyi omukulu okuva mu kitongole kya Food and Agriculture Organisation (FAO), Bernard Kkungu, yagambye nti, bwe yali akula ennyimba ze baayimbanga ku ssomero zaalinga zibakubiriza okukuuma obutonde nga tamanyi nti, olumu ebyali mu luyimba birifuuka ensonga. Era wano we yasabidde buli abeetabye mu mpaka zino okutandika okukuuma obutonde bw’ensi nga tebalinze nkya.
Maneja wa Green Schools Project okuva mu kkampuni ya New Vision, John Paul Eremu yagambye nti, okukuuma obutonde gwe mulamwa omukulu kati gwe baliko kubanga emiti emito gye giggumiza ekibira, ky’ova olaba batendese ababaka baabwe abagenda okutambuza omulimu guno okuviira ddala mu masomero.