NDI mugezi nga mubuulire. Enjogera eno egendera bulungi ku nteekateeka y’essomero lya Kako Senior Secondary School erijjudde ebipande by’obubaka obukunga abayizi n’abantu bonna okukuuma obutonde bw’ensi.

Endabika y’essomero lya Kako SSS eyeegombesa olw’emiti egisimbiddwa
Amon Tumukunde, avunaanyizibwa ku pulojekiti y’obutonde bw’ensi mu ssomero agamba nti, baatandikawo enteekateeka ez’enjawulo mwe bayita okukuuma obutonde nga muno mulimu; okusimba emiti, okutimba ebipande okuli obubaka obukubiriza abayizi, abasomesa n’abantu bonna okukuuma obutonde ate n’okukuηηaanya obucupa bwa pulasitiika n’obuveera.
Kako SSS limu ku masomero agali mu kaweefube w’okutaasa obutonde bw’ensi ayitibwa Green Schools Project nga lisangibwa mu divizoni ya Nyendo- Mukungwe mu kibuga Masaka.

Abayizi Nga Bawumuddeko Mu Kikome Ky'emiti.
LWAKI LYETABA MU KAWEEFUBE
“Tukimanyi nti, obutonde kitundu ku bulamu bwaffe wabula enteekateeka y’okusomesa n’okumanyisa abantu obukulu bw’okukuuma obutonde twagiwa omwaka mulamba nga tusuubira nti, wano tugenda kuba tufunye ababaka abasobola okusigala nga batambuza amawulire g’okukuuma obutonde olwo Ssande July 9, 2023 Bukedde 9 tutandikewo endala,” Tumukunde bw’agamba.
BATANDIKA EKIBIINA KU BUTONDE
Okussa mu nkola enteekateeka eno, baatandikawo ekibiina kye baatuuma Go Green Club of Kako SSS ekigatta abayizi bonna mwe bayita okugabana amagezi n’obukodyo obw’enjawulo mu kukuuma obutonde.
“Nga tuyita mu kibiina kino, tukoze ebintu bingi omuli okusimba emiti, okusimba omuddo n’ebimuli okwetooloola essomero, okuteeka obupande obw’enjawulo ku miti obukubiriza abantu okukuuma obutonde n'ebirala.

Abayizi Nga Bakoola Mu Kalimiro K'eNva Endiirwa.i Bisuliddwa
EKIZIBU KYE BAAGALA OKUMALAWO
Tumukunde agamba nti, ekitundu essomero we lisangibwa abantu bangi beenyigidde mu kusaanyawo obutonde bw’ensi nga batema emiti okwokya amanda.
Noolwekyo, okuyita mu nteekateeka eno bagenderera abantu bonna okufuna engeri gye basobola okufuna ssente okuyita mu bintu ebirala ebitasaanyawo butonde.
“Wano tubatendeka okugatta omutindok u kasasiro ne bakola ebintu nga obukwata ebisumuluzo, ebicupa omuteekebwa ebimuli, okukola obulimiro obutonotono, okukolamu ebintu eby’enjawulo ebinyumisa empya n’ebirala bingi,” bw’agamba.
EBISUUBIRWA OKUKYUSIBWA
Consolate Namaalwa, omusomesa ku ssomero lino agamba nti, basuubira okukyusa endowooza z’abantu ku bikwata ku butonde bw’ensi, okukendeeza obutwa mu ttaka nga tulonda pulasitiika awamu n’okwongera ku byenfuna by’abantu mu kitundu.
OKUSOOMOOZEBWA
Namaalwa agamba nti, olw’okuba balina abayizi bangi ate ng’abasinga ba kisulo, baalina ekizibu kya kasasiro amansibwa naye kyakoma oluvannyuma lw’okugunjawo enteekateeka y’okukuηηaanya kasasiro awamu n’okumugattako omutindo nga bakolamu ebintu eby’enjawulo.