SHAMMAH High School Luweero nabo pulijekiti y’okukuuma obutonde bw’ensi tebalese mabega. Oluba okutuuka ku ssomero lino olaba kiragala akolebwa emiti, omuddo n’ebimuli ebirabirire obulungi.

Abayizi nga bayita mu bukubo obwazimbibwa okwewala okuyita mu muddo okwonoona obutonde ku ssomero lyabwe eryetooloddwa emiti
EBIKWATA KU SSOMERO
Omusomesa w'Olungereza Asio annyonnyola ; Essomero lino lisangibwa mu disitulikiti y’e Luweero era mu disitulikiti ennamba lye lyokka eryetaba mu mpaka zzino. Okuva mu kibuga ky’e Luweero waliwo kkiromiita emu n’ekitundu okulituukako.
Essomero lino lyatandika mu 2006 nga lyatandikibwawo omukyala Mummy Robina.
Abaana abaasooka okusomerawo baalinga ba bitongole bya bannakyewa ng’okusingira ddala baali baana abatalina mwasirizi. Ekimu ku bigendererwa by’essomero lino kyali kya kukuuma butonde era okwetaba mu mpaka zino kyali kituukira ku mulamwa gwaffe ng’essomero. Okuva bwe lyatandika baasooka kusimba miti, gisussa emyaka 20 era tegitemebwa.

Abayizi n’omusomesa waabwe nga basimba ebbugga nga pulojekiti emu ekolebwa okutaasa obutonde
GREEN SCHOOLS PROJECT BAAGITEGEERERA MU MAWULIRE
Essomero ligula amawulire buli lunaku era pulojekiti eno mwe twagitegeerera naffe ne tussaayo okusaba kwaffe era ne tuyita mu kakuηηunta nga y’ensonga lwaki mu mpaka mwetuli nnyo.
BATUNUULIDDE KUSIMBA MITI, BIMULI NA MUDDO
Bwe twava mu kubangulwa twaddayo ku ssomero lyaffe ne tukola kiraabu gye twatuuma Shammah Green Club era ng’abayizi abasinga mwebali. Era kye tukola tubabuulira kye balina okukola ne tubagamba okugeza nti, mufune bye mukola okuva mu bucupa oba mu buveera era wiiki weggweerako babeera bamaze okufuna kye balagawo.
Ekyo bwe twakimala twatunuulira nnyo ne pulojekiti ya kasasiro era tumukuηηaanya nga ffe twekozeemu omulimu wadde nga ku ssomero kuliko abakozi naye abayizi beekolamu omulimu ne balongoosa okusobola okukuuma obutonde bw’ensi bweyagaza.
Ekirala tetukkirizza kaveera ku ssomero, olina okufuna mw’oteeka, ka kubeere ku kaduuka ku ssomero omuyizi alina okugenda n’ebbakuli mwe balina okumuteekera ebyokulya.
Buli lwa Mmande ku lukuηηaana lw’abayizi, tubasomesa obulungi bw’okukuuma obutonde era tufunayo n’omulamwa gwe boogerako era abayizi bonna abali mu ssomero lino tewali asigalidde mabega mu
kaweefube ono gwe tuliko.

Egimu ku miti egiri mu ssomero.
OBUZIBU BWE BASANZE
Mu kusooka, abayizi okubaagazisa pulojekiti eno baali balaba nga ekibonerezo wadde nga kati embeera eno yaggwaawo kuba baakirana nga bafunamu.
Ekirala twandyagadde okukola ebiruke bingi okuva mu pulasitiika ne mu buveera, naye ssente ezigula ebikozesebwa ebirala tetuzirinaawo.