Amawulire

Nabbanja waakutalaaga ebyalo ng'asomesa n'okukunga abantu okujjumbira obulimi n'obulunzi.

KATIKKIRO wa Uganda Robinah Nabbanja ategese kampeyini y'okutalaaga ebyalo ng'asomesa n'okukunga abantu okujjumbira obulimi n'obulunzi.

Nabbanja waakutalaaga ebyalo ng'asomesa n'okukunga abantu okujjumbira obulimi n'obulunzi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KATIKKIRO wa Uganda Robinah Nabbanja ategese kampeyini y'okutalaaga ebyalo ng'asomesa n'okukunga abantu okujjumbira obulimi n'obulunzi.

Kampeyini eno yaakusomesa abalimi ennima n'ennunda eby'omulembe, engeri y'okwongera omutindo ku bye balima oba bye balunda, okukozesa ebijimusa n'ofunamu ekiwera, okukuuma omutindo, okukozesa n'okugula ebikozesebwa eby'omutindo n'engeri y'okufunamu amagoba agawerako.

Nabbanja agamba nti kampeyini egenda kutandikira mu bitundu bya Mubende (Greator Mubende) omuli Mityana, Kassanda, Kiboga, Mubende, Kyankwanzi n'ebitundu ebyetoolodde okutandika nga August 18, 2023 okumala ennaku bbiri era wano bagenda kuba n'abakugu ab'enjawulo abamanyi ku byokulima, okwongerako omutindo, obulunzi obw'omulembe n'abatunda ebikozesebwa ebyenjawulo mu bulimi n'obulunzi.

“Okutumbula eby'obulimi n'obulunzi kye kimu ku byali mu manifesto ya pulezidenti Museveni kati olw'okuba buli muluka gwafunye ssente za Parish Development Model, ate nga ssente ezo zigendereddwaamu kukulaakulanya balimi, twagadde tusomese abantu engeri ezenjawulo zebayinza okukozesa ssente ezo nga beekulaakunya mu
bulimi n'obulunzi” Nabbanja bwategeezezza.

Yagasseeko, “Abalimi n'abalunzi mukozese ssente za PDM okugula ensigo kuba ku mulundi guno Gavumenti tegenda kubawa nsigo. Eno y'ensonga lwaki mulina okweyunira kampeyini eno musome ku nsigo ez'omulembe, okubaguza ebikozesebwa nga tulakita n'ebintu ebirala.''

Ku nsonga ya Bbanka y'ensi yonna obutaddamu kuwa Uganda ssente, Nabbanja yategeezezza nti Bannayuganda tebalina kweraliikirira kuba Gavumenti etaddewo amakubo asatu (3) agasobola okuyamba Uganda omuli okuteesa naba bbanka eyo, okufuna bannamikago abalala ate naffe ffennyini okweyamba mu ngeri ezenjawulo.

Tags:
Robinah Nabbanja
PDM
Greator Mubende
Mityana
Kassanda
Kiboga
Mubende
Kyankwanzi