Amawulire

Omusawo eyagaanyi okujjanjaba omugole n'afa akaabizza ssemwandu amaziga!

OMUSAJJA eyagattibwa empeta ne mukyala we yaguddewo ekigwo puleesa bwe zimukubye n’alwana okumutuusa mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi

Omusawo eyagaanyi okujjanjaba omugole n'afa akaabizza ssemwandu amaziga!
By: Saul Wokulira, Journalists @New Vision

OMUSAJJA eyagattibwa empeta ne mukyala we yaguddewo ekigwo puleesa bwe zimukubye n’alwana okumutuusa mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi. Kyokka kigambibwa nti omusawo gwe yasanzeewo yagaanye okumujjanjaba era n’afa.

Ronald Ssekandi yagattibwa ne mukyala we Sarah Namiiro mu bufumbo obutukuvu nga June 25, yaali mu maziga olw’okuviibwako kabiite we mu ngeri gye yayise ey’olusaago.

Ssekandi Ng’ayogera Eri Abakungubazi.

Ssekandi Ng’ayogera Eri Abakungubazi.


Ssekandi agambye nti omugole we yasiiba talina wamuluma kyokka yamutabukako ekiro ku Ssande ku ssaawa nga 6:00, puleesa bwe zaamukuba n’asala amagezi n’amutuusa mu ddwaaliro lya Mukono General Hopsital asobole okufuna obujjanjabi.

Yategeezezza abakungubazi abaakung'aanye mu bungi mu kuziika nti oluvannyuma lw’ekiseera nga bayita abasawo okubataasa, waliwo omusawo eyavaayo kyokka bwe yayingira akasenge nga balowooza yali agenze kubafunira ddagala, yakomawo n’abategeeza ng’eddwaaliro bwe litalina byuma bipima puleesa n’abasaba baleme na kutawaana kuggya mulwadde mu mmotoka bagende mu ddwaaliro eddala.

Ssekandi yagambye nti baavuga ne boolekera eddwaaliro lya Mukono Church of Uganda Hospital abasinga lye bamanyi ng’ery’e Namirembe ng’eno abasawo baateeka omulwadde mu kagaali ne bamutwala mu kisenge k’abalwadde abayi kyokka oluvannyuma lw’akaseera katono nga bamwekebejja, baakabatema nga bwe yali atuuse mu ddwaaliro ng’amaze okufa.

Ssekandi Ng’ayogera Eri Abakungubazi.

Ssekandi Ng’ayogera Eri Abakungubazi.

Bwe twatuuse ku ddwaaliro eryogerwako, aliddukanya, Moses Bwogi yennyamidde olw’okufiirwa obulamu bw’omuntu n’agamba nti kikyamu omusawo okugamba nti eddwaaliro teryabadde na byuma bipima puleesa.

Bwogi yategeezezza nti bagenda kukola okunoonyereza bwe kinaazuulibwa nti ddala omusawo ono yeeyisizza bwati baakumukangavvula nga bagoberera amateeka agafuga abakozi ba gavumenti. Ssekandi ne kabiite we ono Namiiro bamaze emyaka egisoba mu 20 nga balina abaana bataano.

 Bano batuuze ku kyalo Lweza ekisangibwa mu Mukono Central divizoni mu munisipaali y’e Mukono. Emmisa eyakulembedde okuziika yakulembeddwa Fr. Moses Oboth ng’ayambibwako bwanamukulu w’ekigo kya St. Paul bano gye baabagattira mu bufumbo obutukuvu ng’omusumba w’e Lugazi eyawummula, Bp. Mathias Ssekamanya ye yabagatta ng’ali ne Fr. Edrine Kyakoonye.

Omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke naye yeetabye mu kuziika n’atuusa obubaka obukubagiza n’asaba bamulekwa okubeera obumu ate bayambe ne kitaabwe okuguma.

“Omusajja ayisibwa bubi nnyo bw’aviibwako omukyala okusinga ne bwe guba ng’omukyala afiiriddwaako omwami.

Eky’ennaku, kwe kuba nti obulwadde obwasse Namiiro obwa puleesa mu mawanga agaakula tebukyatta bantu, naye wano ewaffe tukyaziika abantu baffe ababadde ab’omugaso, aboomukwano nga Namiiro,” omubaka Nambooze bwe yategeezezza.

Tags:
Musasi
Mugole
kufa
Puleesa