Amawulire

Ssegirinya atandise okwetundako ebintu bye

OMUBAKA wa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya atandise okutunda ebintu bye asobole okusasula bbiiru y’eddwaaliro erimujjanjaba ng’agamba nti buli olukya yeeyongera okulinnya.

Emmotoka ekika kya Toyota Alphard eringa eno Ssegirinya agitadde mu ba money lender afune ez’obujjanjabi..jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

 Bya Musasi Wa Bukedde

OMUBAKA wa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya atandise okutunda ebintu bye asobole okusasula bbiiru y’eddwaaliro erimujjanjaba ng’agamba nti buli olukya yeeyongera okulinnya.

Omuyambi we, Alex Luswa Luwemba yategeezezza nti mu kiseera kino emmotoka ya Ssegiri­inya ekika kya Alphard nnamba UBN 162C baagisingidde ‘money lender’ basobole okufuna ssente bazimuweereze asasule ku bbiiru y’eddwaaliro.

Mu ngeri yeemu, waliwo n’ettaka lye yiika ssatu lye batadde ku katale mu kaweefube w’okunoonya ensimbi z’okumujjanjaba.

Ssegirinya mu kiseera kino ajjanjabibwa mu ddwaaliro lya UMC mu kibuga Amsterdam ekya Netherlands gye yatwalibwa okuva mu ddwaaliro lya Hargen Ambrock Hospital e Germany gye baamu­longooseza, wabula embeera n’etabuka.

Ssegirinya Ng’ali N’abamu Ku Bannayuganda Abaamukyalidde Mu Ddwaaliro Gy’ajjanjabirwa.

Ssegirinya Ng’ali N’abamu Ku Bannayuganda Abaamukyalidde Mu Ddwaaliro Gy’ajjanjabirwa.

Ebbaluwa eyawandiikiddwa Polof. Saskia Bogers, akulira ed­dwaaliro lino yalaze nti Ssegirinya yaweebwa ekitanda nga August 10, 2023, era bakyali naye okumala wiiki ssatu nga bwe bamwete­gereza.

Ssegirinya bwe yabadde ayogera­ko ne Bukedde, yagambye nti kino ate kyamwongedde obweraliikirivu kubanga ssente zimuweddeko nga ne Palamenti gy’abadde asuubira okufuna obuyambi tewali kivaayo.

Yagambye nti ng’oggyeeko akalulwe ke baalongoosa, alumizib­wa omutwe, ekifuba ne puleesa ekyagaanye okukka era oluusi awulira ng’awungirira.

Yagasseeko nti, abasawo baamusaze ku kisambi ne bamuy­ingizaamu akapiira okwongera okuggya obucaafu mu mubiri wabula ng’agamba nti kano kamu­leetedde obulumi bwa maanyi.

Yafunye n’ekifu ku maaso nga tasobola kulengerera muntu ali ewala n’amutegeera, okuggyako ng’amusemberedde. Amatu nago gaalwala era takyawulira bulungi.

Obulwadde obuluma Ssegirinya bwatandikira mu kkomera e Kigo gye yamala emyezi 17 ng’ali ku li­manda ku misango gy’okwenyigira mu kutema abantu ebijambiya mu bitundu by’e Masaka, Rakai ne Bukomansimbi.

Omwogezi wa Palamenti, Chris Obore ku nsonga ya Palamenti ob­utawa Ssegirinya ssente za kumuj­janjaba nga bwe kizze kikolebwa ku babaka ba palamenti yagumizza Ssegirinya nti ekiseera kyonna palamenti egenda kumusindikira ssente bw’aba nga yaleka ajjuzza empapula ne Uganda Medical Board.

Alex Luwemba

Alex Luwemba

Palamenti ezze ejjanjaba aba­baka ab’enjawulo naddala ababa batwaliddwa emitala w’amayanja okufuna obujjanjabi obw’enjawulo.

NUP EMWESAMBYE

Okuva Ssegirinya ne munne Allan Ssewannyana owa Makindye West lwe baava mu kkomera, babadde tebatera kulabika mu nsonga z’ekibiina kya NUP.

Era bombi wadde baava mu kkomera nga balwadde, abakulu mu NUP omuli ne babaka ban­naabwe tebeenyigidde mu nsonga za kubajjanjaba.

Omubaka wa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze bwe yali ku kitanda mu New York ekya America, pulezidenti wa NUP yafu­na akadde n’amulambulako era n’omubaka wa Kampala, Shamim Malende bwe yali mu ddwaaliro lya Agha Khan e Nairobi naye Bobi yamulambula.

 

Eyali akulira bannamateeka ba NUP, omugenzi Anthony Wameri bwe yali mu America ng’afuna obujjanjabi, abakulu mu NUP baamulambula enfunda eziwera, ssaako abadde akulira abakadde mu NUP omugenzi William Byarugaba naye bwe yabadde mu America baamulambudde.

Wabula okuva Ssegirinya lwe yagenda e Bulaaya okufuna obuj­janjabi, tewali mukulu mu NUP yali amulambuddeko, wadde okumw­ogerako. Ne bw’abaako obubaka bw’atadde ku mukutu gwe ogwa Twitter oba facebook, tewali amuddamu.

Wabula Ssaabawandiisi w’ekibiina kya NUP, David Lewis Lubongoya yategeezezza Bukedde nti yayogeddeko ne Sse­girinya ku ssimu n’akakasa nti ali mu basawo abakungu era basu­ubira nti bagenda kukola omulimu omulungi kuba balina ebikozeseb­wa ebiri ku mutindo ogwetaagisa okujjanjaba Ssegirinya akomewo nga mulamu.

Omubaka omukazi owa Kampala, Shamim Malende ku ky’aba NUP okusuulirira Sse­girinya yagambye nti kisoboka okuba ng’abakulu tebannafuna kunnyonnyolwa kulambulukufu ku bulwadde bwa Ssegirinya nga y’ensonga lwaki tebannamunoon­yaako.

Tags:
Ssegirinya
okwetundako
ebintu