Eddwaaliro ly'e Mulago lidduukiriddwa n'ebikozesebwa mu kulongooosa

Aug 23, 2023

Prudential ewadde eddwaliro ekkulu ery'e Mulago ebikozesebwa  biyambeko abasawo mu kulongoosa n'okwewala endwadde nga yinfekisoni.

NewVision Reporter
@NewVision

MU KAWEEFUBE w’okwewala endwadde nga balongoosa, ekitongole kya Prudential kiwadde eddwaliro ekkulu ery'e Mulago ebikozesebwa ebibalirirwa ensimbi ezisoba mu bukadde 100 biyambeko abasawo mu kulongoosa n'okwewala endwadde nga yinfekisoni.

Dr. John Sekabira Omukugu Eyeebuuzibwako Mu Kulongoosa Ng'aliko By'annyonnyola.

Dr. John Sekabira Omukugu Eyeebuuzibwako Mu Kulongoosa Ng'aliko By'annyonnyola.

Bano nga bakulembeddwa Peter Mugarura, kitunzi w’ekitongole kino, ategeezezza nti bawaddeyo ebintu bino biyambeko abasawo okwewala okufuna endwadde eziva ku balwadde, abasawo n’ebifo we balongooseza era nga mu bye bawaddeyo mulimu enkampa (gloves), obwambe obukozesebwa mu kulongoosa, bandegi, n’ebirala.

Mugarura agamba nti batodde ku ssente z’ensako yaabwe ey’okweddaabulula oluvannyuma lw’ekirwadd kya Covid 19 okugoya eggwanga era ng’enkola y’ekitongole okusoosowaza eby’obulamu, baasalawo okukwasizaako eddwaliro linookwongera okutumbula ebyobulamu mu Uganda.

Sheila Sabune Okuva Mu Prudential Ng'akwasa Dr. John Ssekabira Ebikozesebwa N'abasawo Abalala Okuva Mu Ddwaliro E Mulago.

Sheila Sabune Okuva Mu Prudential Ng'akwasa Dr. John Ssekabira Ebikozesebwa N'abasawo Abalala Okuva Mu Ddwaliro E Mulago.

Dr. John Ssekabira, omusawo omukugu eyeebuuzibwako ku nsonga z’okulongoosa mu ddwaliro e Mulago asiimye ekitongole kino olw'ebintu ebibaweereddwa n’ategeeza nti bigenda kuyamba ku basaawo okujjanjaba abalwadde wabula yagambye nti wakyaliwo obwetaavu bw'ebikozesebwa bino kubanga bafuna abalwadde abasoba mu 100 abeetaaga okulongoosebwa buli lunaku.

Oluvannyuma Sheila Sabune omukungu okuva mu Prudential akwasizza Dr. Ssekabira ebimu ku biweereddwaayo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});