Paapa Francis asiimye pulezidenti Museveni wamu ne sipiika wa palamenti Anita Annet Among olw’okuuma empisa ez’obuntu mu Bannayuganda.

Sipiika Among ng'awayaamu ne Paapa.
Yamukuutidde okukuumira bannansi mu ddiini era n’asiima Uganda olw’obugenyi bwe baAmuwa bwe yajja.
Akuutidde palamenti okubaga amateeka agagasa abantu , okufaayo ennyo okulaba nga bannansi bafuna ekyo kye bateekeddwa okufuna era kye basuubira mu gavumenti.
Yayozaayozayozezza pulezidenti wamu ne maama Janet Kataha okutuuka ku Golden Jubilee era n’amwebaza okubeera omusaale mu kulwanyisa ekirwadde kya COVID 19. Guno omulundi gwakusatu nga sipiika akyala e Vatican.