Nantaba atadde akazito ku Nakwede ku by'okumuliyirira obukadde 20
Aug 29, 2023
Enkalu wakati w’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kayunga Aidah Erios Nantaba ne munne bwe baavuganya ku kifo kino Harriet Nakwedde zizzeemu buto okutojjera oluvannyuma lwa Nantaba okuddukira mu kkooti n’eyisa ekibaluwa kibakuntumye ng’ayagala akwatibwe era aggalirwe mu kkomera oluvannyuma lw’okulemererwa okumusasula ensimbi ze ezikunuukiriza mu bukadde 20 z’amubanja.
By Joanita Nakatte
Journalist @New Vision
Enkalu wakati w’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kayunga Aidah Erios Nantaba ne munne bwe baavuganya ku kifo kino Harriet Nakwedde zizzeemu buto okutojjera oluvannyuma lwa Nantaba okuddukira mu kkooti n’eyisa ekibaluwa kibakuntumye ng’ayagala akwatibwe era aggalirwe mu kkomera oluvannyuma lw’okulemererwa okumusasula ensimbi ze ezikunuukiriza mu bukadde 20 z’amubanja.
Embeera eno eddiridde Nantaba gye buvuddeko okumegga Nakwedde mu musango gwe yali yamuwawaabira ng’amulanga okwenyigira mu kubba obululu mu kulonda okwaliwo mu 2021.
Harriet Nakwedde Eyateereddwaako Ekibaluwa Ki Bakuntumye.
Eggulo ku Mmande puliida wa Nakwedde Steven Muzuusa n’abamu ku bayambi ba Nakwedde abaakulembedwaamu Joseph Ouma baalabiseeeko mu maaso g’akola ng’omuwandiisi wa kkooti Enkulu ey’e Mukono, Nasif Mubiru Umar okwewozaako ku kibaluwa kino ne bategeeza ng’omuntu waabwe bwe yali atandise ku nteekateeka eno kyokka wakati mu nteekateeka y’okusonda ensimbi zino kyokka omubaka Nantaba n’alangirira bwe yali mu kkanisa emu e Bukolooto nga bwe yali amusonyiye era nga baamwewuunyizza nnyo ate okulya ebigambo bye.
Ono era ategeezezza nga kkooti bwe yakkaanyiza ku ky’okuleeta eddoboozi ly’omubaka era nga baakuggya nalyo mu kkooti eno nga 16 omwezi gwa October nga bwe balagiddwa.
Munamateeka w’omubaka Nantaba, Ambrose Tebyasa ataalabiseeko mu kkooti bw’atukiriddwa ku lukomo lw’essimu ategeezezza nga ye amaloboozi agoogerwako bw’atagamanyi era nga n’ensimbi ezoogerwako ssi za mubaka wabula zize ye ng’omuntu ze yakolera emirimu gy’omubaka n’agamba nti agenda kwogerako n’omubaka Nantaba balabe eky’okuzzaako.
No Comment