Bya Tom Gwebayanga
EBISEERA bya ssennyiga omukambwe, okuva mu 2019 - 2021 mwalimu ebintu bingi ebitaali bya bulijjo by’oyinza okuyita ebyeneena.
Abantu abamu baalwalanga m ngeri eteri ya bulijjo nga mu bano mwe mwali ne Dwaki Namulondo,58, eyamera ebyoya mu kyenyi, ku kifuba n’emikono nga enkima ng’omuggalo gwa ssennyiga omukambwe (COVID-19) gunaatera okutuuka n’afuuka ekyerolerwa.
Bino byali ku kyalo Nabitula mu ggombolola y’e Bugaya mu disitulikiti y’e Buyende, Namulondo bwe yalwala omusujja ne gumulemeramu, okwava obubonero obw’engeri n’atandika okumera ebyoya bino.
Namulondo yategeeza nti, mu kusooka ng’omusujja gwakamukwata, mu kamwa mwatandika okukaayirira nga buli ky’alya ne bwe kiba kiwoomerera kikaawa, waayita mbale ebyoya ne bitandika okumera.
EBYOYA BYAKULANGA NGA KITWETAAGISA OKUBIMWA BULI LUVANNYUMA LW’ESSAAWA MUKAAGA
Robert Bakirya, ng’ono ye mwannyina Namulondo, yategeezezza nti, ebizibu byatandika mu October 2018.
Agamba nti, baabuna amalwaliro okuli Bugaya Health Center III, we baava ne babasindika mu Jinja General Hospital, abasawo gye baakizuulira nti, ng’oggyeeko omusujja, yalina alusa ez’omutawaana.
Wano we yava n’atandika okufuna amabwa mu kamwa, olwo ebyoya ne bitandiikiriza mpola okumera, mu wiiki ssatu byali bibunye mu maaso gonna, ekitundu ky’emikono n’ekifuba.
Okumanya ebyoya byatabuka, byatandika okumera ku misinde nga kyetaagisa okubisala buli luvannyumwa lw’essaawa mukaaga, era kye baakola kwe kugulira ddala eggirita eziwera nga bwe biwera nga bazimwa. BUKEDDE we yatuukira ku mulwadde ng’ayogerera mu ddoboozi lya wansi, n’ategeeza nti, ebizibu byatandika ali mu disitulikiti y’e Kayunga.
Embeera bwe yabiggya n’azzibwa e Nabitula mu Buyende, wabula ng’essuubi ly’okuwona alaba ttono. Bakirya yategeeza nti, beebuuza ku basawo ab’enjawulo naye nga basibira ku kimu, nti mumutwale mu basumba b’abalokole bamusabire.
Baliraanwa n’abataka baatandika okuwanuuza nti, kyandiba nga waliwo be yanyiiza oba be yaloga nabo ne bamuloga, naye ng’atya okukyatula.
OBUZIBU TEBUVA KU DDOGO - BASAWO
Wabula abasawo b’e Kamuli baawakanya ebiwanuuzibwa nti, ddogo.
Dr Stephen Ddaaki eyali akulira eddwaaliro ly’e Kamuli ekkulu mu biseera ebyo, yategeeza nti embeera eno eva ku buzibu obuba butuuse mu busimu (hormones) bw’omubiri nga kyava ku musujja gw’ensiri.
Embeera ya Namulondo bwe yataama, abaali bamwa ebyoya ne baatandika okukoowa nga bamala n’ennaku 4 nga tebamumwedde, era omuggalo gwa COVID-19 gwagenda okutaama nga Namulondo kumpi yafuuka zzike oba nkima, anti amaaso gonna gaali gabulidde mu mwoya ogwali gusaakaatidde okukkakkana ng’afudde era n’asigala mu byafaayo by’e Busoga ne Uganda.
Nga nno nkulabira ensi, ebyeneena abamu balowooza byakoma mu byafaayo naye nga bye tutambuliramu leero bingi bifulula ne bye wali osomyeko mu byafaayo.