Bya James Magala
MINISITA omubeezi ow'Ebyettaka Dr.Sam Mayanja alabudde Pulezidenti w'ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu obutagezaako kuddamu kulumbagana Pulezidenti Museveni ng'amulumiriza okwenyigira mu kubba ettaka n'okutigomya Bannayuganda.
Kyagulanyi ng'asinziira mu lukungaana ggaggadde lwe yakuba mu bitundu by'e Luweero mu ntambula ze z'aliko ng'agenda atalaaga eggwanga yalumiriza Pulezidenti Museveni okuba emabega w'ekibba ttaka ekitadde abantu ba Buganda ku bunkenke.
Ebigambo bya Kyagulanyi bino bisaanudde minisita omubeezi ow'Ebyettaka, Dr.Sam Mayanja n'amwanukula ng’ ono amuyise wa munguuba olw'okumala galumiriza Pulezidenti Museveni okubba ettaka ly'abantu ba Buganda n'ategeeza okwo kusabuka na bigambo.
Minisita Mayanja asoomozezza Kyagulanyi okuleeta obujulizi obuluma Pulezidenti Museveni bw'abanga akakasa nti aliko Ettaka ly'omuntu yenna lye yabba.
Wabula Minisita Mayanja asabye Bannayuganda obutakkiriza Kyagulanyi kubakyamuukiriza n'ategeeza nti Pulezidenti Museveni akoze kinene nnyo okulwanyisa ekibbattaka naddala wano mu Buganda.
Minisita Sam Mayanja era awakanyizza n'ebyayogeddwa Kyagulanyi nga bwe waliwo n'akabinja k'abantu abalala ababbira ettaka mu linnya lya Pulezidenti Museveni nga teboogerwako n'ategeeza nti si kituufu.