OMUGAGGA Biyinzika avuddeyo n'annyonnyola ensibuko y'ebizibu by'amabanja agatuusizza ebintu bye okutundibwa ku nnyondo, n'alaga n'amakubo agayinza okumuzza engulu.
Samuel Mukasa Biyinzika, ye mutandisi wa kkampuni ya Biyinzika Enterprises Limited eyolekedde okuggalawo singa tewaba kikolebwa kya mangu.
Asinzidde mu America n'awa mutabani we Isaac Mukasa olukusa okwogerako ne Bukedde, yalaze amakubo agayinza okumuzza engulu, bizinensi ze zireme kuggalawo.
Bannamateeka ba Cairo Bank, ebanja Biyinzika aba Tumusiime, Kabega and Company Advocates, baalanze mu mawulire ebyobugagga bye nga byakutundibwa ku nnyondo mu nnaku 30 okuva ekirango lwe kyafulumye mu mawulire ku Lwokubiri nga September 12, 2023.
Isaac Mukasa agamba nti mu kiseera kino batubidde mu bbanja lya buwumbi 21 okuva mu dfcu Bank ne Cairo Bank.
EBYOBUGAGGA EBIRUGENDA
Ebyobugagga ebyalangiddwa kuliko ennyumba ezipangisibwa eza Dina Apartments ezisangibwa e Ntinda mu munisipaali y'e Nakawa ku luguudo lwa Ntinda Road ku Plot 131, 133 ne 135, ng'ennyumba zino za kalina.
Kuliko ettaka lya yiika 41 erisangibwa e Namusansula, Kasambya e Katikamu mu disitulikiti y'e Luweero, erisangibwa ku block 44 plot 59 ne 67.
Ku ttaka lino kuliko ennyumba omuli ekyuma ekyalula obukoko, ebiyumba by'enkoko bisatu eby'amaanyi, ennyumba z'abakozi, n'ekyuma ekyaluza obukoko nga buli wiiki kifulumya 460,000.
Waliwo n'ettaka erisangibwa e Buswagiro, mu disitulikiti y'e Luweero nga lya yiika 100, okuli ennyumba z'abakozi, ekifo we bategekera emisomo, ne ddaamu y'amazzi. Ettaka lino liri ku block 795 plot 8.
Abaagala okubigula baasabiddwa okuteekamu okusaba kwabwe mu nnaku 30 zokka, ku ofiisi za bannamateeka ba Tumusiime, Kabega and Co Advocates, ezisangibwa ku luguudo lwa Yusuf Lule mu Kampala.