ABALIMI ku kyalo Mukokotokwa mu ggombolola y’e Mbulamuti mu disitulikiti ye Kamuli balaajanidde abakulira ebyobulimi mu disitulikiti y’e Kamuli okubayamba ku bugambibwa okuba obuwuka obulumbye emisiri gy’emmwaanyi zaabwe.
Bagamba nti emmwaanyi esooka kwengera makoola, ekiddako emmwaanyi zennyini okwengerera nga tezinnatuuka n’ekisembayo ekikolo kyonna kikala.
Baategeezezza nti kino kikendeezezza amakungula ng’abaali bafuna kkiro 2,000 mu yiika omwaka kati bafuna 500 ate nga bateeseemu ebijimusa kw’ossa okukozesa amaanyi mangi. Baagala abalimisa babataase obulwadde buno kuba bubafuukidde ekizibu.
Omulimisa w’eggombolola y’e Mbulamuti Isabirye yategeezezza nti waliwo akawuka akayitibwa ‘black coffee trig boarer’ ke kakaza obutabi bw’emmwaanyi era kano ke kasinga okukosa naye omulimi asobola okukafuuyira nga akozesa eddagala eriyitibwa striker.
Ate obulwadde obulala obwengeza emmwaanyi, okozesa ebijimusa n’oteeka ku kikolo wabula buli obulwadde obukaza ekikolo awo omulimi alina kukisimulayo akyokye.
Mu nsisinkano n’omumyuka wa RDC, Sarah Kasadha, eyabadde alambula faamu y’omulimi Moses Mpasa ku kyalo kino, abalimi baamuloopedde n’ababbi b’emmwaanyi nga bwe babafuukidde ekizibu