Owa Liverpool ajja mu Uganda

EMPAKA za Standard Chartered Cup zikomyewo n’ebbugumu, bwe zisikirizza eyali ssita wa Liverpool wakati wa 1990 ne 1999, Steve McManaman okubeerawo nga zizannyibwa.

Owa Liverpool ajja mu Uganda
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Standard Chartered Cup #Steve McManaman

EMPAKA za Standard Chartered Cup zikomyewo n’ebbugumu, bwe zisikirizza eyali ssita wa Liverpool wakati wa 1990 ne 1999, Steve McManaman okubeerawo nga zizannyibwa.

McManaman, 51, yazannyira Liverpool emipiira gya Premier 272 n’ateeba ggoolo 46.

Nga batongoza empaka zino eggulo ku ofiisi za Standard Chartered e Nakasero, Margaret Kigozi, akulira ebyakitunzi mu bbanka eno, yalangiridde nga McManaman bw'agenda okubeerawo nga October 7 ku kisaawe kya MTN Omondi e Lugogo ng'empaka zino zigenda mu maaso.

Ttiimu ezisoba mu 40 ze zisuubirwa okwetaba mu mpaka zino ez'abazannyi 5 nga kuliko omukazi buli ludda.