Omulabirizi Ssebaggala asimattuse okugajambulwa e LuweeroZari Hassan

Oct 03, 2023

OMULABIRIZI eyawummula James William Ssebaggala awonye okugajambulwa Abakristaayo bwe yabadde agenze ku kkanisa ya Trinity Church of Uganda e Katikamu mu Luweero okussaako abaana emikono ku Ssande.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

OMULABIRIZI eyawummula James William Ssebaggala awonye okugajambulwa Abakristaayo bwe yabadde agenze ku kkanisa ya Trinity Church of Uganda e Katikamu mu Luweero okussaako abaana emikono ku Ssande.

Abavubuka bano abazze ng’Abakristaayo okusinza, baageze Bp. Ssebaggala n’abakulembeze abalala bali mu kasenge gye bambalira balyoke bayingire mu kkanisa okutandika okusaba ne babasalako nga bagamba nti tebajja kuganya Bp. Ssebaggala kuyingira kkanisa n’okussaako abaana emikono, baagala Can. Godfrey Kasana Ssemakula eyali yalondebwa n’asazibwamu.

Abakristaayo abaabadde bateredde entende mu kkanisa nga balindiridde okutandika okusaba bwe baalabye ebigenda mu maaso wabweru, ne bafuluma okwahhanga abavubuka nga muno mwagendeddemu n’abakazi abaabadde beesibye gomesi era abamu kata ebikooyi babibambulemu!

Obudde bwe bwazze ku bunnaabwo, poliisi y’e Luweero yayitiddwa era olwatuuse n’ewandagaza amasasi mu bbanga ssaako ttiyaggaasi okukkakkanya abaabadde balwana. Poliisi yakutte abantu bana okwabadde; Joel Droma 29, omukuumi mu katale k’oku Kaleerwe, Ronnie Balaki 23, owa Mambule zooni e Kawempe mu Kampala, Moses Mugabe 21 ow’e Sekamusu mu Wobulenzi ne Owen Twesigye okuva mu katale ka Kaleerwe.

Bp. Ssebaggala yalondebwa Ssaabalabirizi Stephen Kazimba okukuuma entebe y’Obulabirizi bw’e Luweero, oluvannyuma lw’olukiiko lw’abalabirizi olwatuula e Hoima mu Bunyoro okusazaamu Can. Kasana eyali alondeddwa mu kifo kino.

Okuva Bp. Ssebaggala bwe yatandika obuweereza, buno abadde asanga okusoomoozebwa olw’akabinja k’Abakristaayo abaali emabega wa Can. Kasana okumusimbira ekkuuli nga n’abamu baagaana okuddamu okulinnya mu kkanisa.

Omwogezi wa poliisi mu Savana, Sam Twineamazima yategeezezza nti abaakwatiddwa bagenda kuvunaanibwa okusaalimba n’okwonoona ebintu by’ekkanisa.

BP. SSEBAGGALA AYOGEDDE

Bp. Ssebaggala yagambye nti ebyabaddewo tebyamukanze era tebijja kumuggya ku mulamwa kukola byamutumwa kuba byakolebwa ne ku mutume Paulo ne batuuka n’okumusiba mu kkomera n’okugezaako okumutta kyokka baabivaako n’abuulira enjiri ya Kristo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});