Amawulire

Aba BClarah bawaddeyo ekyapa ky'omuwanguzi w'embuutu y'embuutikizi wa Bukedde mu butongole

Ettaka lino lisangibwa Mpambire - Kibuye mu Mpigi disitulikiti nga kiriko obugazi bwa ffuuti 50 ku 100.

Aba BClarah bawaddeyo ekyapa ky'omuwanguzi w'embuutu y'embuutikizi wa Bukedde mu butongole
By: Patrick Kibirango, Journalists @New Vision

Herbert Ssenyonga, owa BClarah Property Services akwasizza maneja wa Bukedde Fa Ma Embuutikizi, Yawe Herbert Kabanda n’omukung’aanya ow’oku ntikko owa Bukedde Olupapula, Michael Mukasa Ssebowa ekyapa ky'okuwangulwa mu Mbuutu y’Embuutikizi Tinkuuula nga October 29, e Kavumba.

Ettaka lino lisangibwa Mpambire - Kibuye mu Mpigi disitulikiti nga kiriko obugazi bwa ffuuti 50 ku 100.

Ssenyonga Akulira Bclara  N'alambuza Maneja Kabanda Ne Ssebowa N'aba Bukedde Abalala Ettaka Ly'omuwanguzi.

Ssenyonga Akulira Bclara N'alambuza Maneja Kabanda Ne Ssebowa N'aba Bukedde Abalala Ettaka Ly'omuwanguzi.

Okuwangula ekyapa kino, ogula Olupapula lwa Bukedde ku 1000/-, n’ojjuza akakonge akali ku muko ogw’okubiri n’okatereka, olwo obeera ojja kukaleeta mu Mbuutu y'Embutikizi nga October 29, e Kavumba, Wakiso.

Ku lunaku olwo nga Bukedde Fa Ma ejaguza okuweza emyaka 15, omuwanguzi w’ekyapa lw’ajja okulangirirwa mu kalulu akanaakwatibwa.

Ddayirekita wa Bclarah, Ssenyonga yategeezezza nti baawaddeyo ekyapa kino eri Bukedde olw'enkolagana ennungi gye balina nayo wamu n'okwagala okukulaakulanya abantu.

Mu ngeri y'emu ne kkampuni ekola amata eya Royal Milk e Nansana ewagidde enteekateeka ya Bukedde Fa Ma ey'okudduukirira abawuliriza baayo ab'Omu Katanga.

Bano bawaddeyo liita 1000 eza Royal Milk ze bakwasizza maneja wa Bukedde Fa Ma n’omukung’aanya w’Olupapula  ku dipo yaabwe e Nansana.

 

Kitunzi wa Royal Milk, Sudaisi Kirunda yagambye nti baasanyufu okwegatta ku Bukedde Fa Ma ng'ejaguza emyaka 15 era baakubeerayo mu Katanga nga 23 omwezi guno.

Kirunda akunze abantu okubawagira nga bagula amata ga Royal Milk kubanga agakolebwa mu Uganda agali ku nkola ya gavumenti eya Buy Uganda Build Uganda (BUBU).

Maneja wa Bukedde Fa Ma, Kabanda yasiimye abantu abaawaddeyo era n'asaba n’abalala beegatte ku nteekateeka eno wamu n'okujja mu bungi mu Mbuutu y'Embuutikizi e Kavumba.

Okuyingira mu mbuutu y’Embuutikizi Tinkuula e Kavumba kugenda kubeera kwa 10,000/-. Abayimbi ne ba DJ bonna baakubaayo okwo gattako abakozi ba Bukedde bonna.

Tags:
Bukedde Olupapula
Bclarah Properties
Bukedde Fa Ma
Embuutu y'embuutikizi