JJAJJA TOVA KU MAIN : Hajati Namyalo amezze Gashumba

Oct 19, 2023

AKULIRA ofiisi ya Ssentebe wa NRM e Kyambogo, Hajati Hadijah Namyalo akubye Frank Gashumba ekigwo mu musango Gashumba gwe yali yamuwawaabira ng’akaayanira engombo ya ‘’Jjajja tova ku main’’

NewVision Reporter
@NewVision

 Bya Scovia Babirye

AKULIRA ofiisi ya Ssentebe wa NRM e Kyambogo, Hajati Hadijah Namyalo akubye Frank Gashumba ekigwo mu musango Gashumba gwe yali yamuwawaabira ng’akaayanira engombo ya ‘’Jjajja tova ku main’’

Gashumba yali yeekubira enduulu mu bitongole ekya Uganda Reg­istration Service Bureau (USRB) ng’ayagala kiyimirize Hajati Namy­alo ne ofiisi ya ssentebe w’ekibiina kya NRM e Kyambogo okukozesa eng’ombo ya ‘‘Jjajja Tova ku main.’’

Kyokka amyuka akulira okuwan­diisa ebiyiiye (Registrar of Copyright) mu USRB, Dennis Birungi agobye okusaba kwa Gashumba n’ategeeza nti obujulizi Gashumba bwe yaleese tebumatiza.

Birungi annyonnyodde nti okusin­ziira ku bujulizi, Gashumba agamba nti yayiiya engombo eno nga Novem­ber 05, 2022 kyokka ate Namyalo agamba nti baatongoza ebigambo bino nga October 19, 2022 era wano Birungi w’asinzidde n’agoba omu­sango era n’ategeeza nti Gashumba si ye nnannyini bigambo bino era talina bujulizi bumala, Namyalo ne ofiisi ye balina eddembe okusigala nga bakozesa ebigambo bino nga bwe baagala.

Mu bujulizi bwe, Gashumba yalu­mirizza nti Hajati Namyalo bwe yali yaakalondebwa okukulira ofiisi ya ssentebe wa NRM e Kyambogo baat­uula n’amusaba okuyiiya eng’ombo gye bagenda otambulirako nga badda mu bantu mu kutambuza emirimu gya Pulezidenti Museveni okutuusa mu 2026 era wano we yayiiyiza engombo ya ‘Omalako Jjajja Tova ku main’’ ne bakkiriziganya era n’etongozebwa.

Gashumba yategeezezza nti mu nteeseganya ezaakolebwa enjuyi zombiriri bakkaanya nti yekka yalina okukubisa T-Shirt eziriko obubaka buno obwa ‘ Omalako jjajja Tova ku main,” okukubisa ebipande bye baateekako emikono nga basaba Pulezidenti Museveni okukomawo mu 2026 kw’ossa n’ebikozesebwa ebirala byonna ebigwa mu kkowe lino.

Wabula Gashumba agamba si mumativu n’ensala y’omusango era agenda kweyongerayo mu kkooti en­kulu okujulira okutuusa lw’anaafuna obwenkanya.

NAMYALO AMEZZE NE  KITATTA W’E LWENGO

Mu ngeri y’emu aba USRB omu­sango gwa Ssentebe wa Disitulikiti y’e Lwengo, Abraham Kitatta gwe ya­loopa nti Hadijah Namyalo yakoppa eng’ombo eno mu mboozi ye gye yawandiika mu mawulire, omul­amuzi amugambye nti kituufu ye yawandiika emboozi naye ebigambo si bibye.

Hajati Namyalo ne banne bwe baabadde basagambiza bategee­zezza nti beetegefu okulwanirira engombo eno ku buli mutendera gwonna

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});