Bya Basasi ba Bukedde
PULEZIDENTI Museveni akambuwadde n’alaga engeri gy’agenda okufutizaamu abayeekera ba ADF, abaakoze obulumbaganyi ne batta abalambuzi babiri ne ddereeva waabwe, abaabadde mu kulambula mu kkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth National Park ku Lwokubiri akawungeezi.
Omu ku balambuzi yabadde ava Bungereza, ate omulala nga w’e South Africa, nga ddereeva eyabadde abavuga ye Munnayuganda. Okusinziira ku Museveni, aba ADF bano be bamu ku bakaawonawo abadduka okuva e Congo, UPDF n’amagye ga Congo gye bali mu kubawenja okulaba nga bamalibwawo.

Nnamwandu Ruth Mutamba
Obulumbaganyi baabukoze ku ssaawa nga 12 ez’akawungeezi ku Lwokubiri lwa wiiki eno, ku luguudo lwa Katwe – Kabatooro olusangibwa mu kkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth.
Museveni yalayidde nti abatujju bano ne bwe banaakola batya, bagenda kusasulira ebikolwa byabwe era omutango gwe bagenda okusasula gwa bulamu bwabwe.
Yalagidde UPDF, Poliisi, ebitongole ebikessi n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku makuumiro g’ebisolo ekya Uganda Wild Life Authority okufuba okulaba nga kino tekiddamu kubaawo mulundi mulala.
Yamaze dda okwogerezeganya ne UPDF okukyusa mu bukodyo bw’ebadde ekozesa okuyigga aba ADF. Bulijjo bakozesa akakodyo ak’okugoberera ekisinde abayeekera mwe babeera bayise, paka bwe babaggukako, naye kati bamaze okubaga obukodyo obupya bwe bagenda okukozesa okubafufuggaza.
Museveni yalagidde ekitebe kya Uganda e Bungereza okutuukirira famire z’abalambuzi abaafudde, batwaleyo obuyambi obwetaagisa, mu kiseera kino kye balimu eky’amaziga.
ABA FAMIRE YA MUNNAYUGANDA EYAFUDDE BAKYAKUNGUBAGA
Munnayuganda Eric Alyayi 40, eyafudde n’abalambuzi abadde ddereeva wa kkampuni ya Gorilla and Wild Life ekola omulimu gw’okutambuza abalambuzi.
Namwandu wa Alyayi, Ruth Mutamba yagambye nti omwami we yava awaka ku Mmande naye kumpi buli kiseera babadde boogerezeganya ku ssimu nga amubuuza ku mbeera y’omwana waabwe gwe yaleka nga mulwadde.
“Twasembye okwogera nga ansuubizza okunsindikira ssente ezikola awaka, kyokka essimu gye nazeemu okufuna ng’egamba nti omwami wange attiddwa,” Kutamba bwe yagambye wakati mu maziga.
Ye Rosemary Kabahinda maama w’omugenzi yagambye nti mutabani we abadde ayagala buli muntu, ate nga nabo bamwagala nnyo kubanga abadde akumaakuma baganda be kwosa n’okubalabirira obulungi.
PALAMENTI EKUNGUBAGIDDE ABATTIDDWA
Palamenti yakungubagidde abalambuzi abaafiiridde mu bulumbaganyi obwakoleddwa aba ADF, amyuka sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa n’alaga okunyolwa kubanga eggwanga libadde ligenda liva mu kukosebwa kw’omuggalo gwa Covid-19, naddala mu by’obulambuzi, kyokka abayeekera ne bakola ekikolwa ekyentiisa eri abalambuzi ne Bannayuganda.
Wabula yagumizza Bannayuganda nti wadde ekikolwa kino kyabadde kya ntiisa, era kyandikosaamu ebyobulambuzi, naye tekitegeeza nti eby’okwerinda by’eggwanga biri mu matigga.