Oluguudo lwa Kabaka anjagala lucamudde abe Lubaga

Oct 20, 2023

Abatuuze b’omu Divisoni y’e Lubaga mu Kampala, bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lw’ekitongole kya KCCA, okuddaabiriza ekitundu ku luguudo lwa Kabaka anjagala, okuli Nantawetwa, era nga lugatta enkulungo okuli oluguudo olugenda ku Eklezia ya Lutikko y’e Lubaga.

NewVision Reporter
@NewVision

Abatuuze b’omu Divisoni y’e Lubaga mu Kampala, bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lw’ekitongole kya KCCA, okuddaabiriza ekitundu ku luguudo lwa Kabaka anjagala, okuli Nantawetwa, era nga lugatta enkulungo okuli oluguudo olugenda ku Eklezia ya Lutikko y’e Lubaga.
Oluguudo luno lubadde mu mbeera mbi okumala emyaka esatu, kyokka oluvannyuma lw’okukolebwa, abatuuze bawuliddwa nga bagamba nti, kati bafunye ku buweerero kubanga oluguudo lwabwe kati luli kawerette.
Okusinga, abatuuze bagamba nti oluguudo luno lubadde lubawa obuzibu okukozesa naddala mu budde bw’ekiro, olw’ebinnya ebinene ebirubaddemu.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});