Amawulire

Aba Mother’s Union basomeseddwa ku nnima y’obutiko

ABAKYALA ba Mother’s Union balambudde ezimu ku pulojekiti zaabwe ze baatandikawo okufunamu ssente ezinaayamba amaka gaabwe.

Aba Mother’s Union basomeseddwa ku nnima y’obutiko
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

ABAKYALA ba Mother’s Union balambudde ezimu ku pulojekiti zaabwe ze baatandikawo okufunamu ssente ezinaayamba amaka gaabwe.

Bano abaakulembeddwa Pulezidenti waabwe mu Bulabirizi bw’e Namirembe, Roseline Biingi Kawiso, baakyazizza abakyala okuva mu Bulabirizi obw’enjawulo okuli Luweero, Mukono, Mityana, West ne Central Buganda ne Kampala era baasoose ku kkanisa ya St. Johns Chapel e Mengo gye baasisinkanidde Omulabirizi w’e Namirembe, Wilberforce Kityo Luwalira eyabasabidde n’abakuutira okukolera awamu. 

Ensisinkano ya bano yatuumiddwa “Study Tour” abakyala mwe bayita nga balambula n’okuyigira ku bannaabwe bye bakola nga ku luno baabadde mu Bulabirizi bw’e Namirembe.

Baasookedde Kawaala gye baalambulidde ffaamu y’obutiko era ne basomesebwa ku nnima yaabwo eno Sarah Ssewannyana pulezidenti wa bakyala mu bulabirizi bw’e Mukono n’ategeeza nti bye bayize baakubisomesa abakyala abalala. 

Beeyongeddeyo e Namulonge gye baasomedde ku nnima ey’omulembe n’okulunda ente.

Tags:
Mother's Union
Butiko
Nnima
Nnunda
Bulunzi
Kkanisa