LAYINI z’essimu akakadde kalamba n’okusoba ze zigenda okusalibwako wiiki eno, olw’ebikwata ku bannanyini zo okubeera nga si birambulukufu. We bunaakeerera ku Ssande nga November 12, 2023, nga tewali layini yonna egwa mu kiti ky’ezo ezitalina bizoogerako birambulukufu egenda kubeera ku mpewo.
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commission (UCC), kiragidde kkampuni z’amasimu zonna okussa mu nkola ekiragiro kino awatali kwekwasa nsonga yonna.
Abudu Sallam Waiswa Munnamateeka Wa Ucc. Wakati Ye Denis Kakonge Ne Julius Mboizi Munnamateeka Wa Mtn Ku Ucc E Bugoloobi.
Munnamateeka wa UCC, Abdu Salam Waiswa, yasinzidde mu lukung’aana lw’abaamawulire olwatudde ku kitebe kya UCC e Bugoloobi eggulo ku Mmande nga November 6, 2023, n’agamba nti layini z’essimu ze batunuulidde, zeezo ezawandiisibwa kyokka ne kizuulibwa nga ebinkumu bye baggya ku bannanyini zo, amannya gaabwe, n’ebifaananyi byabwe, nga tebikwatagana na densite ya ggwanga.
Oluvannyuma lwa Minisitule y’obutebenkevu okuzuula nga waliwo abamenyi b’amateeka abakozesa layini nga ebizoogerako tebikwatagana, ne beenyigira mu bumenyi bw’amateeka, yasalawo layini zonna ez’ekika kino zisalibweko, ssinga bannanyini zo balemererwa okutwalayo ebibakwatako ne ziddamu okuwandiisibwa.
Ali mu mbeera eno olina kukola ki?
Omuntu yenna alina layini eyeetaaga okuddamu okuwandiisibwa, olina kukikola mu nnaku zino ennya ezisigaddeyo.
Munnamateeka wa MTN Julius Mboizi ne Denis Kakonge okuva mu Airtel, bagamba nti alina layini eyeetaaga okuddamu okuwandiisa genda ku ofiisi za Airtel ne MTN ezikuli okumpi, oba ewa egenti yenna alina ebyuma ebiwandiisa, nga densite yo ey’eggwanga ekuli mu ngalo, baddemu bakuwandiise.
Densite yo bw’eba yabula ogenda ku NIRA ne bakukolera ebbaluwa eraga nti ebikukwatako babirina, n’ogenda nayo ku ofiisi za MTN ne Airtel ne bakuwandiisa. Okwewandiisa kuno kwa bwereere era
baalabudde abantu okubeera obulindaala baleme kugwa mu kitimba ky’abafere abatandise okukozesa omukisa guno okukubira abantu nga babaggyako ssente nti babawandiisize layini zaabwe.
Mu kiseera kino, Mboizi ne Kakonge bagamba nti layini ezigenda okusalwako, bannanyini zo baatandika dda okubasindikira obubaka obubalabula era bulijjo babakoowoola okuddamu okuwandiisa layini zaabwe era abamu baakikozeeko.
Atasobola kusoma naye ng’olina essimu, bw’olaba nga abakukubira tebakyasobola kukufuna, oba nga naawe bw’okuba essimu tezikyayitamu, manya nti layini yo y’emu ku zigenda okusalwako.
Era bw’olaba nga layini yo bagisindikako ssente naye nga tosobola kuziggyayo, olumu nga tokyasobola na kumanya oba waliwo akusindikidde ssente, yanguwa mangu ogende owandiise layini yo.
Abalina ssente ku layini ezinaasalwako babawadde emyezi mwenda
Layini bwe zinaamala okusalwako, UCC etaddewo ebbanga lya myezi mwenda bannanyini zo mwe basobolera okuziwandiisiza, ziddemu zibaddire. Abalinako ssente zaabwe, okuzifuna balina kumala
kuddamu kuwandiisa layini zino okusobola okuzifuna. Emyezi mwenda bwe ginaggwaako nga tonaddamu kuwandiisa layini yo, ssente ezinaaba ziriko UCC egamba nti zaakusindikibwa mu bbanka enkulu gy’oba ozisanga.
Abakozesa layini z’abagenzi baakuvunaanibwa
Waiswa era yalabudde Bannayuganda abakozesa layini z’abantu abaafa okukikomya bunnambiro, kubanga ssinga bakwatibwa baakuvunaanibwa.
Ayagala okukozesa layini y’omugenzi, Waiswa akuwadde amagezi ogende ogiwandiise mu mannya go, naye oteekwa okugenda n’ebbaluwa ekakasa nti omuntu oyo yafa, layini eyo esobole okuddizibwa mu mannya go.