Essengejjero ly'amazzi e Katosi lisasula amasannyalaze ga Bukadde 800 buli mwezi
Nov 08, 2023
Amyuka Sipiika Tayebwa alambudde essengejjero ly’amazzi e Katosi-bamukaabidde obulindo bw’ensimbi ze basasula ku masannyalaze buli mwezi zibamenya.Omumyuka wa sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa ng’ali wamu n’ababaka ba palamenti ab’enjawulo balambudde essengejjero ly’amazzi ery’e Katosi, eryanzimbibwa gavumenti mu kaweefube w’okutuusa amazzi amayonjo ku bantu abawangaalira mu bitundu bya Kampala, Wakiso ne Mukono.

NewVision Reporter
@NewVision
Amyuka Sipiika Tayebwa alambudde essengejjero ly’amazzi e Katosi-bamukaabidde obulindo bw’ensimbi ze basasula ku masannyalaze buli mwezi zibamenya.
Omumyuka wa sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa ng’ali wamu n’ababaka ba palamenti ab’enjawulo balambudde essengejjero ly’amazzi ery’e Katosi, eryanzimbibwa gavumenti mu kaweefube w’okutuusa amazzi amayonjo ku bantu abawangaalira mu bitundu bya Kampala, Wakiso ne Mukono.
Tayebwa okulambula kuno kuli mu kaweefube gw’aliko mu kiseera kino ow’okulambula pulojekiti ez’enjawulo ezikolebwa gavumenti mu bitundu by’eggwanga egy’enjawulo naddala ezo palamenti z’eyisizaako ensimbi okuli n’ezeewolebwa.
Ono abadde n’ababaka okuli omukyala owa disitulikiti y’e Mukono Hanifa Nabukeera, Fred Kayondo owa Mukono South, Igeme Nathan Nabeta owa Jinja Municipality East, Oliver Katwesigye Kokyenga owa Buhweju district, Helen Nakimu ow’e Kalangala n’abalala.
Omumyuka wa Sipiika Tayebwa ng’ali n’ababaka ba palamenti b’atuukidde ku lusozi e Nsumba, National Water gye yazimba ttanka zi lugogoma mwe batuusiza amazzi agaggyibwa mu nnyanja nga tegannasindikibwa mu ttanka endala ez’e Ssonde ate ezigasindika mu bitundu by’ekibuga Kampala eby’enjawulo n’emiriraano abantu gye bagakozeseza.
Yinginiya ng'annyonnyola ababaka ba Palamenti ku ssengejjero ly'amazzi e Katosi
Bano oluvudde e Nsumba boolekedde e Mpunge ewali essengejjero ly’amazzi ssenkulu w’a National Water, Eng. Silver Mugisha ne bayinginiya abalala ne babalambuza ebifo eby’enjawulo ebyazimbibwa mu nteekateeka y’okuggya amazzi mu nnyanja n’okugasengejja gaveemu obucaafu balyoke bagaweereze abantu abagakozesa.
Nga balambula, Ying. Joseph Tweheyo, maneja w’essengejjero lino e Katosi ategeezezza nti ekimu ku bizibu ebibali mu bulago, bwe bulindo bw’ensimbi ze basasula ku masannyalaze mu UMEME buli mwenzi eziwerera ddala obukadde bw’ensimbi 800 ku ssengejjero lino lyokka ng’ekireeta lino bye byuma ebikola mu kusengejja amazzi n’ebyo ebigasindika okugenda gye bagenda mu ttanka nga bikola essaawa 24.
Tweyeyo agasseeko nti ekizibu ekirala kwe kuba nti aba UMEME babasasuza ssente nga ziringa ze basasuza abakozesa amasannyalaze ewaka sso si ng’ab’amakolero be basalirako ekitali kituufu kuba amasannyalaze ge bakozesa be bamu ku kkampuni 10 mu Uganda yonna ezisinga okukozesa amasannyalaze amangi buli mwezi.
Ying. Silver Mugisha asabye gavumenti eyogerezeganye n’aba UMEME balabe bwe ekizibu kino bwe kiyinza okusalirwa amagezi olwo kibeere ng’ensimbi ze banaafissaawo ate bazikozesa okwongera okubunyisa amazzi mu bantu.
Ku nsonga y’amasannyalaze, Tayebwa era akitegedde nti bano bayimiridde ku masannyalaze ga UMEME gokka ky’agambye nti kikyamu kuba lwe gaba gafunye obuzibu ne gavaako ennaku ezisukka mu lumu kiyinza okukosa nnyo Bannakampala, Wakiso ne Mukono abagayimiriddeko essaawa yonna.
Ono abawadde amagezi balowooze ku ky’okuzimba amsannyalaze g’enjuba ag’amaanyi agawerako gabayambe okukwasaganya ekifo kino mu budde ng’amasannyalaze aga UMEME gavuddeko ng’oba oly’awo gye bujja bayinza n’okusalawo okuviira ddala ku UMEME ensimbi ze babadde bakozesa okusasula amasannyalaze ago ne bazikolamu ebirala.
Ababaka n’okusingira ddala ab’e Mukono okuli Nabukeera ne Kayondo basiimye Tayebwa ku kaweefube gw’aliko ow’okulambula pulojekiti za gavumenti mw’agenda okuyita okuzuula ebitongole ebyaweebwa ensimbi ne bitabeerako bye bikola ate n’ebyo ebirina bye bikoze ng’ekya National Water.
Bano bamuloopedde ng’abatuuze abawangaalira mu bifo ebirinaanye ekifo kino bwe bakyali mu bbula ly’amazzi ssaako ekibululu ky’amasannyalaze wadde ng’aba National Water bategeezezza ng’enteekateeka bwe ziwedde okulaba nga bano babawa amazzi.
Essengejjero lino lizimbibwa nga lifumya amazzi lita obukadde 24 buli lunaku wadde nga mu kiseera kino lifulumya lita obukadde 16.
No Comment