Amawulire

Owa Namibia atisse Kirumira obubaka bw’abasuubuzi

PULEZIDENTI wa Namibia Dr. Hage G. Geingob, atisse omubaka we mu Uganda, Godfrey Kirumira obubaka eri abasuubuzi Banna­yuganda abaagala okukolera mu nsi ye nti baddembe okugyeyag­aliramu.

Pulezidenti wa Namibia Dr. Hage G. Geingob (wakati), n’omubaka wa Namibia mu Uganda Godfrey Kirumira ne mukyala we ..jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Joseph Mutebi

PULEZIDENTI wa Namibia Dr. Hage G. Geingob, atisse omubaka we mu Uganda, Godfrey Kirumira obubaka eri abasuubuzi Banna­yuganda abaagala okukolera mu nsi ye nti baddembe okugyeyag­aliramu.

Baabadde mu nsisinkano ye n’ababaka be abakiikirira Namibia mu nsi ez’enjawulo wiiki ewedde be yasisinkanye e Namibia. Kiru­mira yawerededdwaako mukyala we Grace Namara Kirumira eyali omubaka wa Palamenti akiikirira disitulikitu y’e Lyantonde.

Ababaka ba Namibia abalala abaabadde mu nsisinkano eno kwabaddeko owa Angola, Camer­oon, Czech Republic, Equatorial Guinea, North Macedonia, Nigeria, Serbia ne America.

Pulezidenti Hage yasabye Kiru­mira okulaba nga akwanaganya Uganda ne Namibia buli munnansi mu nsi zino asobole okweyagalira mu nkulaakulana y’eggwanga eddala.

Namibia balina amafuta, en­nyama gye batunda mu nsi nga China, Bungereza, America, Ni­geria. Balina obulambuzi, basima eby’obugagga eby’omu ttaka era bajjumbidde nnyo okuzimba ama­yumba agatundibwa n’okukola enguudo ez’omulembe.

Ebyobulimi e Namibia biri wag­gulu nnyo era Kirumira agamba nti mu myaka nga etaano, Namibia egenda kubeera nga Bulaaya.

Kirumira yagumizza Bannayu­ganda nti ku ntandikwa y’omwaka ogujja agenda kutwala abasuubuzi ba wano e Namibia okulaba n’okuyiga ebikolebwayo basobole okubakoppa n’abalala okugenda okukolerayo naddala abali mu by’okuzimba amayumba. Ssente za Namibia eza “Rand” kumpi zenk­anakana doola okuzitowa.

Kirumira oluvannyuma yalam­budde amatendekero n’ebitongole eby’enjawulo mu Namibia okulaba emirimu gye bakola okuli; Namibia Desert Diamonds (NAMDIA), Meat Corporation of Namibia (MEATCO), Namibia Ports Authority, Merlus Seafood Processors, Dinapama Manufac­turing and Supplies era n’akyalako ne ku minisitule evunaanyizibwa ku by’obugagga eby’omu ttaka gattako n’okukyalako mu ofiisi ya Gavana w’essaza lya Erongo Region.

Mu bugenyi buno omubaka Kirumira yakyaliddeko n’amyuka Katikkiro wa Namibia, Dr. Ne­tumbo Nandi- Ndaitwah.

Tags:
Namibia
atisse
Kirumira
obubaka