Amawulire

Kondakita wa 'Baby Coach' bamuggalidde lwa kukusa baana abanoonyi b'obubudamu

Kandakita wa 'Baby Coach' bamuggalidde lwa kukusa baana abanoonyi b'obubudamu

Kondakita wa 'Baby Coach' bamuggalidde lwa kukusa baana abanoonyi b'obubudamu
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

KONDAKITA wa bus ya kampuni ya Baby Coach , akwatiddwa ku bigambibwa nti abadde yeenyigira mu kukusa abaana abanoonyi b'obubudamu, ng'abatwala e Congo okwegatta mu kibiina ky'Abayeekera.

Faridah Nabakooza 37 omutuuze w'e Bulenga mu Wakiso, ye yakwatiddwa n'abaana Bataano, abagambibwa nti abadde abakukusa okubayingiza mu ggwanga lya Congo, okubagatta ku kibiina ky'Abayeekera ekimanyiddwa nga ''Twirwaneho '' .

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga, ategeezezza nti abaana bano, yali yabajja mu nkambi y'abanoonyi boobubudamu eya Nakivaale n'abongerayo e Congo