OMUKAZI wuuno alina nnabaana ey’ekisa, ate Katonda n’amuwa omukono ogukuza abaana be bonna nga kati bajaguzza amazaalibwa gaabwe ag’emyaka 2.
Ono si ye mukazi akyasinze okuzaala abaana abangi omulundi ogumu. Wabula ekimufudde owenjawulo, kwe kuba nga bonna omwenda nga bwe yabazaala, bakyaliwo ate nga balamu katebule.
Omukyala ono ye Halima Cissé 27, munnansi wa Mali eyakubawo ezzadde lya baana mwenda (9) mu luzaalo lumu.
Kattivvi mu ddwaaliro ekkulu e Mali kaasooka kuzuula nti olubuto lwa Cissé lwalimu abaana musanvu (7) kyokka abalitwala ne basalawo okumusindika e Morocco gy’aba azaalira.
Nga wasigadde omwezi nga gumu azaale, ab’e Morocco baakizuula nti Cissé yali yeetisse abaana mwenda era nga May 4, 2021 abasawo mu ddwaaliro lya Ain Borja Clinic mu kibuga Casablanca, ekya Morocco baamulongoosaamu abaana mwenda be ddu nga balamu katebule.
Bano mu ddwaaliro lino baasigalayo okumala emyezi 19 ng’abasawo babagabirira n’okubeekebejja.
Abaana bano abaazaalibwa kuliko abawala bataano (5) n’abalenzi bana nga buli omu azitowa wakati wa gulaamu 500 ne kkiro emu (1), era minisita w’ebyobulamu e Mali, Dr. Fanta Siby ye yalangirira eri bannansi ba Mali abaasanyuka ennyo ne babalinda lwe bannazzibwa okwa boobwe babaanirize mu kitiibwa.

Omusawo N’omu Ku Baana 9 Abaazaalibwa Halima Mu 2021 Ng’amukeberako Mu Kyuma Ekimuwa Ebbugumu.
Kitaawe w’abaana bano, Adjutant Kader Arby, omuvuzi w’amaato g’eggye lya Mali, ye yasigala waka nga y’alabirira muwala waabwe omukulu okutuusa ng’abato bazziddwaayo.
Mu October 2021, famire eno yafulumya ekifaananyi ekyalimu abazadde bano nga bali n’abaana baabwe bonna. Ku bawala kuliko Adama, Oumou, Hawa, Kadidia ne Fatouma, ate abalenzi ye Oumar, Elhadji, Bah ne Mohammed VI.
Bano era beekubisizza n’ekifaananyi ekirala ng’abaana bano baweza emyaka ebiri (2) mu May wa 2023 nga basanyufu.
Ono ye mukyala ekyasoose okuzaala abaana abangi bonna ne basigalawo nga balamu. Abalala bazze bazaala abaana abangi omulundi gumu naye nga bakuzaako batono ate abalala nga bonna bafa.
Olw’ekyafaayo kino, Cisse ne bba baaweereddwa ne satifikeeti ya Guiness World Records mu May 2023.

Halima, Bba Arby N’abaana Baabwe 9 Lwe Baawezezza Emyaka 2 Mu May 2023.