Amawulire

Omubiri gw'omugenzi Mpanga gutuuse ku Palamenti w'agenda okusiimibwa

Owek. Joyce Mpanga w’afiiridde abadde mukiise mu lukiiko lwa Buganda era omuwi wa magezi eri Ssaabasajja.

Omubiri gw'omugenzi Mpanga gutuuse ku Palamenti w'agenda okusiimibwa
By: Edith Namayanja, Journalist @New Vision

OMUBIRI gw’omugenzi Owek. Joyce Mpanga gutuusiddwa ku palamenti awagenda okutuula olukiiko olw’enjawulo olw’okumusiima emirimu gyakoledde eggwanga.

Owek. Joyce Mpanga w’afiiridde abadde mukiise mu lukiiko lwa Buganda era omuwi wa magezi eri Ssaabasajja. Ono yaliko minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako mu gavumenti eya wakati.

 Tayebwa Ng'asembera okwanirizi Omubiri Gw'omugenzi Mpanga.

Tayebwa Ng'asembera okwanirizi Omubiri Gw'omugenzi Mpanga.

Omubiri gw’ono gutuusiddwa ku ssaawa 4:14 era nga gwaniriziddwa amyuka sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa, amyuka Katikkiro wa Uganda owookusatu Hajjati Rukia Nakadama, minisita wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda, ababaka ba palamenti okuva mu NRM nga n’akabondo ka Buganda kakiiriddwa ababaka okubadde omukyala ow’e Luwero Brenda Nabukenya kw’ossa Geffrey Kayemba Solo owa Bukomansimbi South.

Bbandi Ya Poliisi Ng'ekuba ennyimba.

Bbandi Ya Poliisi Ng'ekuba ennyimba.

Ab’enganda z’omugenzi nabo bababaddewo era nga baakwetaba mu lutuula olw’enjawulo olugenda okutuula ku ssaawa 8:00 ez’emisana nga lwakukubirizibwa omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa.

Ekiteeso ky'okusiima emirimu gy'omugenzi kyakuleetebwa Katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja era kisembebwe akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti, Mathias Mpuuga.

Tayebwa Ng'akulembeddemu Baminisita N'ababaka okwaniriza Omubiri Gw'omugenzi Mpanga

Tayebwa Ng'akulembeddemu Baminisita N'ababaka okwaniriza Omubiri Gw'omugenzi Mpanga

Tags:
Amawulire
Palamenti
Omugenzi Joyce Mpanga