Bya Tom Gwebayanga
KYABAZINGA William Gabula Nadiope IV, akoleddwaako emikolo gy’obuwangwa egy’okumukulisa embaga ng’Obuwangwa bwa Busoga bwe bulagira.
Emikolo gy’obuwanga egy’okumala ennaku 14, Kyabazinga baatandikirawo okugimukolako mu Lubiri lw’e Budhumbula nga gisuubirwa okuggwa ku Lwokutaano lwa wiiki eno, n’oluvannyuma alyoke agende mu Hanemuunu ne Inebantu Jovia Mutesi.
Kyabazinga yagattibwa ne Inhebantu ku Lutikko e Bugembe ku Lwomukaaga nga November 18, 2023, era nga November 20, yava mu kisenge n’asisinkana abagenyi abaali beetabye ku mbaga ye nga tebannakyaluka, ne boogera ku bigatta n’okukulaakulanya Busoga.
Okuva kw’olwo, Kyabazinga abadde asisinkana abagenyi ab’enjawulo abanaayamba Busoga okuva ku bizibu naddala obwavu, obutasoma n’endwadde.
ENNAKU 14 EZ’EMIKOLO
Omumbejja Mmandwa Wanhana, ng’ono ye Ssenga wa Kyabazinga era nga ye “kiggula ne Kiggalalugi” ku Lubiri lw’e Budhumbula yagambye nti Kyabazinga alina okumala ennaku 14 ng’akolwako emikolo gy’ekinnansi egy’ekyama, olwo bagende mu Hanemmuunu.
Eno y’emu ku nsonga lwaki lwe banaagenda mu Hanemuunu ne gy’enaabeera, tebimanyiddwa.
“Ennaku 14, tuba tumukolako emikolo egy’obuwangwa n’Omugole we, wano ku Lubiri e Budhumbula ne Igenge, kuba twagala abe n’obufumbo n’obukulembeze obutaliimu birummira,” Wanhana bwe yagambye.
Yagasseeko nti, emikolo gino egy’ekyama gigendereddwaamu empewo z’ekika Ekirangira zimuwe emikisa n’okubawandako aeddusu ne Inhebantu, olwo agende mu Hanemuumu bakomewo batambuze bulungi Obwakyabazinga.
EKISENGE YAKIMAZEEMU ENNAKU 2 ZOKKA
Embaga olwawedde, Kyabazinga teyabandadde mu kisenge kuba wayise ebiro 2 byokka n’atandika okusisinkana abagenyi.
Ensonda mu Lubiri lw’e Igenge zaategeezezza nti ku Mmande, Kyabazinga yavudde mu Lubiri lw’e Igenge n’asisinkana abagenyi ab’Obwakabaka bwa Eswatini n’abanene abalala.
Bano kw’abaddeko Abalangira Bandzile Dlamini ne Sicalo Dlamini, nga bano batabani ba Kabaka Mswati lll ow’Obwakabaka bwa Eswatini mu kizinga ky’e Swaziland.
Bamusisinkanye mu Makaage ag’enkizo agasangibwa e Bbunga - Kampala, ne banyumya ku kugumya omukwano n’Obwakabaka bwa Eswatini, okuwaanyisiganya endowooza ku by’obuwanga, ebyenjigiriza n’enkulaakulana.
EMIKOLO GYA KYAMA
Omumbejja Wanhana yategeezezza nti okufaananako ne Sir. W Nadiope eyaliko Kyabazinga, era nga ye jjajja wa Gabula, bwe yamala okugattibwa ne Yunia Nadiope mu myaka 1940, mu Lubiri yamalamu ennaku 14 olwo ne bagenda mu Hanemuunu e Bungereza.
Mandwa Kagulu Nabiryo, ng’ono y’asamirira Olusozi lw’e Kagulu mu disitulikiti y’e Buyende, yategeezezza nti ku Lubiri lw’e Budhumbula waliwo essabo abaana n’abazzukulu aba ffamire ya Nadiope mwe bakolwaako emikolo..
“Omwo mwe tuwongera ne tufuna ebirungi enjolo, okuli n’okuwalula entebe y’Obwakyabazinga n’esigale e Bugabula, Kagulu bwe yagambye.
Mu ngeri y’emu nga Hanemuunu ewedde, Kagulu ayagambye nti Gabula aligera olunaku n’aleeta Inhebantu mu masabo ku Lusozi lw’e Kagulu. Eno gy’alyanjulira Inhebantu mu butongole, olwo empewo zimufuuweko.