Abavubuka mwekomoze okutangira akawuka ka siriimu

Nov 30, 2023

NewVision Reporter
@NewVision

ABAVUBUKA bakubiriziddwa okwekomoza n’okwegendereza baleme okukwatibwa akawuka ka siriimu ate n’abakalina baleme okukasaasaanya, nga beewala
eby’okwegatta n’abantu ab’enjawulo, okwekebeza nga tebanneegatta, okukozesa kondomu n’okwekuumira ku mubeezi omu.
Bino byabadde ku Kampala Institute of Health Professionals e Mengo mu lukuhhaana olwetabiddwaamu abayizi, abasawo ne bannamawulire. Lwagendereddwaamu okutegeka omwoleso gwe baatumye Health and Trade Expo mwe bagenda okusomeseza abavubuka okwekuuma akawuka ka siriimu, okubakubiriza okumira eddagala n’okukozesa eddagala ly’obutonde okuzimba obutoffaali bwabwe obulwanyisa endwadde ez’amaanyi nga kookolo. Okukomola abasajja, n’emisomo emirala egiwagala obwongo nga gyonna giri ku kulwanyisa kawuka ka siriimu.
Catherine Natukuda, omusawo era ng’abudaabuda abalina akawuka ka siriimu ku Joy Medical Center mu Ndeeba yagambye nti, okukomolebwa kikendeeza bitundu 90 ku mikisa egy’okufuna akawuka ka siriimu eri omusajja n’okukwatibwa endwadde
ez’obukaba kuba kikuuma obuyonjo bw’omusajja.
Andrew Walugembe owa Kampala Health Professionals omu ku baateeseteese yakuutidde Bannayuganda okugondera omulanga gwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ogw’okulwanyisa akawuka ka siriimu abatannakafuna beekuume, ate abakalina bamire bulungi eddagala lyabwe kaggweemu amaanyi
tugende okutuuka mu 2030 nga tewali muntu asiiga.
Eddieman Andrew Maviiri, akola okunoonyereza ku ddagala ly’obutonde yakuutidde
Bannayuganda okwettanira eddagala erikolebwa mu butonde kibayambe okulwanyisa endwadde ez’amaanyi omuli; kookolo, ssukaali, puleesa n’endala Dr Joan Ebong Odyek, akolera mu Uganda Blood Transfusion Services Nakasero yakuutidde Bannayuganda okugaba omusaayi kiyambeko ku bantu abatalina musaayi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});