Batemye empenda z'okulwanyisa obumenyi bw'amateeka mu nnaku enkulu

Dec 01, 2023

AB’EBYOKWERINDA ab’okuntikko baliko bye bakaanyizzaako n’abakulembeze b’ebyalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Goma bye basuubira ebinaamalawo obumenyi bw’amateeka n’okukuuma obutebenkevu mu biseera bino ey’ennaku enkulu bye twolekera

By Joan Nakate
Journalist @New Vision

AB’EBYOKWERINDA ab’okuntikko baliko bye bakaanyizzaako n’abakulembeze b’ebyalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Goma bye basuubira ebinaamalawo obumenyi bw’amateeka n’okukuuma obutebenkevu mu biseera bino ey’ennaku enkulu bye twolekera.

Bano ababadde bakulembeddwa omuduumizi wa poliisi ya kampala n’emiriraano Steven Tanui, baasisinkanye abakulembeze bano ku kitebe ky’eggombolola y’e Goma okuteesa ku bigenda okukolebwa okusaanyaawo obumenyi bw’amateeka obususse ennyo naddala mu Kabuga k’e Sseeta omuli abasusse okumenya amayumba g’abantu, obubbi bw’emotoka ne pikipiki, abayingirira n’okumenya bizinensi z’abantu n’obubbi obulala obw’ekika eky’enjawulo.

Tanui, anenyezza ba ssentebe b’ebyalo bano okwewaa ennyo eddembe erisukiridde eriwadde abamenyi b’amateeka omwagaanya okutuusa obulumbaganyi ku bantu era n’abanenya n’okugoba ku by’okuyimbula abaana naddala ab’enzaalwa z’okubyalo byabwe ababeera bakwatiddwa mu bubbi kye yagambye nti kikyaamu ekiremezza obubbi ku bitundu byabwe.

Abataddeko akakwakukkulizo akasooka ak’okukuba enkiiko z’ebyalo mwe bagenda okuwandiisa abantu bonna n’okumanya abasula ku byalo byaabwe nga n’abagenda okukyala ku byalo okulya ennaku enkulu, bateekeddwa okubamanya okwewala okuyingizza ababbi n’abatemu ku byalo.

Abasabye okuttukiza obuto ensonga ey’okulawuna ebyalo naddala mu budde obw’ekiro  nga bali wamu ne poliisi kiyambeko okutiisa abayinza okwaagala okubba mu kiro.

Ab'ebyokwerinda nga bali mu lukiiko

Ab'ebyokwerinda nga bali mu lukiiko

Ayanjudde enkola empya egenda okubayambako okumalawo obubbi, abakulembeze bano mwe baweereddwa obupapula okuwandiikako abantu be bamanyi abasusse okutigomya ebyalo byaabwe olwo poliisi kw’enaasinziirira okutandika okukola okunoonyereza kwaayo.

Akalaatidde abakulembeze bano okulaba nga bassa amataala naddala mu bifo eby’enzigotta ebyo ebimanyiddwa ababbi mwe bateegera abantu mu kiro, n’abasaba era okukubiriza abantu okussa Camera ku nnyumba zaabwe  zibayambeko okumanya ababbi.

Ye Wabwire Joab aduumira poliisi mu bbendobendo ly’obugwanjuba alangiridde nga bwe bagenda okukola ebikwekweto eby’amaanyi mu bifo eby’enzigotta mu Kabuga k’e Sseeta ne Mukono mwe bagenda okukwata abavubuka naddala abo abetanidde okunywa ebiragalalagala n’omwenge emisana ttuku kyokka ekiro ne batandika okutigomya abantu n’alabula ba ssentebe bano obutabatemyaako.

Ba ssentebe nabo abakulembeddwa Angello Mukasa bawadde okwemulugunya kwaabwe eri ab’ekitongole kya Poliisi omuli abakulira polisi ez’enjawulo okubeera abakambwe ekisukiridde nga bakaluubirirwa okukolagana obulungi nabo, okulwaawo okutuuka mu kifo ssinga wabaawo ensasagge ebeera egudde, okusaba ssente zamafuta ez’emotoka ya poliisi ezisukiridde n’okusomoozebwa okulala.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});