Bagguddewo ekkanisa eyazimbiddwa Gen. Katumba

Dec 04, 2023

SSAABALABIRIZI w’ekkanisa ya Uganda Dr. Stephen Kazimba Mugalu agguddewo ekkanisa ya St. Mark Kikandwa eyazimbiddwa Gen. Edward Katumba Wamala esangibwa e Kasawo mu disitulikiti y’e Mukono.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

SSAABALABIRIZI w’ekkanisa ya Uganda Dr. Stephen Kazimba Mugalu agguddewo ekkanisa ya St. Mark Kikandwa eyazimbiddwa Gen. Edward Katumba Wamala esangibwa e Kasawo mu disitulikiti y’e Mukono.
Ekkanisa eno, Ssaabalabirizi Kazimba yagitemera evvuunike nga June 4, 2022, nga mikwano gya Gen. Katumba gyasitukiramu okusonda ensimbi z’okugizimba. Gen. Katumba yagambye nti ekkanisa eno yagizimbye nga yeebaza Katonda olw’okumusimattusa abazigu abaasindirira emmotoka mwe yali atambulira amasasi agatta muwalawe, Brenda Nantongo ne ddereeva we olwo ye n’asimattuka n’ebisago.
Omukolo gw’okugiggulawo gwabaddewo eggulo ku Ssande era Ssaabalabirizi Kazimba yabadde ayambibwako omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo n’omulabirizi wa Central Buganda eyawummula, Jackson Matovu n’abalala. Omulabirizi w’e Namirembe Omulonde, Rev, Can. Moses Banja ne mukyala we, Can. Olivia Banja nabo baabaddewo.
Gen. Katumba yategeezezza nti wadde ye yawoma omutwe mu kuzimba ekkanisa eno naye ya bantu so si yiye na ffamire ye ng’abantu abamu bwe babadde bakitwala.
Ssaabalabirizi yasiimye Gen. Katumba olw’okuzimba kkanisa ey’omulembe ku kyalo kw’azaalibwa n’asabira bazadde ba Gen. Katumba omukisa okuli nnyina, Dorothy Wamala ne taata Henry Wamala olw’okuzaala omwana afuuse omukisa eri Uganda
n’agamba nti bano wadde baafa, bakyali balamu olw’omwana waabwe ono.
Ssaabalabirizi era yennyamidde n’agamba nti wadde amakanisa nga gano mangi gazimbiddwa eky’ennaku abagasabiramu batono nnyo, so ng’ate Abakulisitaayo bangi. Omukolo gwetabiddwaako eyaliko omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Nelson Kawalya , omugagga Gaster Lule Ntakke nga y’abadde akuliddemu omulimu gw’okuzimba era yayanjulidde abantu omulimu nga bwe gubadde

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});