Amawulire

Avumiridde ennyambala y'abakazi abakunamira abantu: ''Abasajja tetukyafuna na ssente, mweddeko ku nnyambala'

MUTUBAGUMU Nangabo Ssaalongo Kigoonya, asinzidde mu Lumbe lw'eyaliko Mmeeya wa Kasangati, Francis Lukwago Kakoona Musoke, n'avumirira abakazi n'abaana ab'obuwala abasussizza okukunamira ensi nti bwe bataakikomye nsi eno tekyaddayo kufuna mirembe.

Avumiridde ennyambala y'abakazi abakunamira abantu: ''Abasajja tetukyafuna na ssente, mweddeko ku nnyambala'
By: Moses Nyanzi, Journalists @New Vision

MUTUBAGUMU Nangabo Ssaalongo Kigoonya, asinzidde mu Lumbe lw'eyaliko Mmeeya wa Kasangati, Francis Lukwago Kakoona Musoke, n'avumirira abakazi n'abaana ab'obuwala abasussizza okukunamira ensi nti bwe bataakikomye nsi eno tekyaddayo kufuna mirembe.

"Mutukunamidde nnyo, muyitiriza! Abasajja tetukyafuna na ssente, eddagala ku ttale lye twejjanjabisanga nalyo mulikunamidde, ne muliswaza. Likaze n'okukala! Mukunamye nnyo mweddeko, ensi ekaaba lwakuba mmwe kyokka ng'ate mmwe Bannakazadde. Mweddeko ku nnyambala yammwe esusse si mu bakulu si bato, mwambala bubi nnyo," bw'atyo Kigoonya bwe yategeezezza.

"Okwetuga kw'abaana nze nkuze sikuwulirangako nga  bweguli kati, bino byonna n'ebikuuno bye tuwulira entakera mwe abakunami mwe mubireese. Mukuume obuwangwa n'ennono, tuzze ensi yaffe ku mulembe nga bwe gwalinga ku bajjajjaffe. 

Ow'essiga lya Jjumba E Bunjakko, Lawrence Kiggundu Ng'akwasa John Kiggundu ebbaluwa Ekakasa Obusika bwe.

Ow'essiga lya Jjumba E Bunjakko, Lawrence Kiggundu Ng'akwasa John Kiggundu ebbaluwa Ekakasa Obusika bwe.

Bino munansonyiwa okubyogerako, bituluma ng'abakulembeze b'ennono. Ye ate nandibyogeredde wa?? Era nnina kubyogeererako wano mu lumbe, kuba we mbasanze, Mbasaba mudde eri Katonda omuntu alimu eddiini tasobola kweyisa nga bwe mweyisa mu nnyambala gye mwambalamu, ate mwewale okuvuma ebivumo ebinene ng'abaana bawulira bino byonna bye bivuddeko embeera eno," bwatyo Kigoonya bwe yakkaatiriza.

Faaza  Braiz Zzimbe eyakulembeddemu ekitambiro kya mmisa yasabye omusika John Kigundu okukuuma obumu akwataganye baasikidde, okukuuma ettaka, n'obuteefuula wa kitalo kuba asise.

Francis Kakoona yaliko Mmeeya wa Kasangati mu myaka gy'ensavu, era MunnaDP omukukuutivu.