Bya Edith Namayanja
SIPIIKA wa palamenti, Anita Among alagidde ababaka abalabikidde ku lukalala lwabwo 30 abagambibwa okukumpanya ensimbi z’ebibiina by’obwegassi obuwumbi 165 okweyanjula ku poliisi mu bunnambiro bakole sitatimenti buli omu.
Sipiika okutuuka ku kino, kiddiridde omubaka wa Nakaseke South Luttamaguzi Ssemakula okuvaayo n'ategeezza nga byalaba mu mawulire nti waliwo ababaka 30 nga bataano ku bano ba ludda luvuganya okuba nga baalya ensimbi zino kyennyamiza era nga n’abalonzi bamuli bubi balowooza naye ali ku lukalala luno.
Bino webijjidde ng' akakiiko ka palamenti akalondoola eby’obusuubuzi n’ebibiina by’obwegasi akakubirizibwa omubaka wa Mbarara City South Mwine Mpaka kakamaliriza okunoonyereza ku nsonga eno era nga ne minisita omubeezi ow’ebyobusuubuzi Harriet Ntabaazi yaakafulumya sitatimenti nti ababaka 30 be bali emabega w’okulya ensimbi zino.
Bwatyo Lutamaguzi asabye sipiika waakiri ayanike ababaka ku ludda oluvuganya balina ku lukalala lwe mu lujudde nga ensi yonna ewulira.
Sipiika Among mu kwanukula ono agambye nti olukalala yaluweereza dda ababaka era n'agamba buli eyalulabikiddeko agende yeeyanjule ku poliisi mu bwangu ddala kubanga era ne IGG yamuweereza ku lukalala luno.