Amawulire

Omukuumi akubye omukozi amasasi n’afiirawo

POLIISI y’e Mukono esanze akaseera akazibu okugumbulula abakozi abaabadde bataamye oluvannyuma lwa asikaali okukuba munnaabwe amasasi agaamuttiddewo.

Abamu ku bakozi nga basobeddwa.jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

 Bya Joanita Nakatte

POLIISI y’e Mukono esanze akaseera akazibu okugumbulula abakozi abaabadde bataamye oluvannyuma lwa asikaali okukuba munnaabwe amasasi agaamuttiddewo.

Joseph Ochen abadde omukozi wa kkampuni ya Atlas esangibwa ku kyalo Ssenyi Ddegeya mu ggombolola y’e Goma e Mukono ye yattiddwa asikaali wa kkampuni ya Corporate Security abadde yaakaleetebwa ku mulimu.

Embeera eno yavud­deko abakozi n’abatuuze okwegugunga ne baagala okwokya kkampuni wab­ula poliisi n’ekkakkanya embeera.

Okusinziira ku bamu ku bakozi abakola mu kkampuni eno abaalabye ebigenda mu maaso, baat­egeezezza ng’omukuumi bwe yasoose okulumiriza omugenzi nga bw’abadde yabbye emisumaali esatu n’agikweka mu ngoye kyokka nti bwe yamwa­zizza n’atamusanga nagyo, n’atandika okumubuuza akana n’akataano wa gye yabadde agikwese era nga wano olutalo we lwatan­dikidde.

Rashid Muwanga omukozi mu kkampuni eno yategeezezza nga munnaabwe bwe yagezez­zaako okwerwanako oluvannyuma omukuumi n’agalula emmundu n’akuba amasasi era abiri ne gamukwasa ne gamutta. Bannannyini kkampuni eno baagaanyi okubaako ne kye boogera ku nsonga eno

Tags:
Omukuumi
akubye
omukozi
amasasi
afudde