Amawulire

Omusuubuzi akkirizza ogw'okusangibwa n'emmundu mu bukyamu

OMUSUUBUZI w’e Masindi  avunaaniddwa okubeera n’emmundu ssaako amasasi mu bukyamu, akkiriza emisango gyombi.

Abduh Aziizi Ssebayira
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

OMUSUUBUZI w’e Masindi  avunaaniddwa okubeera n’emmundu ssaako amasasi mu bukyamu, akkiriza emisango gyombi.

Abduh Aziizi Ssebayira 36, nga musuubuzi e Masindi era omutuuze mu Kijjura zone , Central Division e Masindi abadde mu kkooti y’amagye e Makindye n'avunaanibwa okubeera n’emmundu ssaako amasasi nga talina lukusa.

Ssebayira emisango ebiri gimusomeddwa ssentebe wa kkooti Brig Gen Freeman Robert Mugabe era gyombi n'akkiriza nti ddala bituufu.

Ono yasooka kwegaana emisango gino mu 2021 kyokka ku mulundi guno bwe yaleeteddwa mu kkooti, looya we Capt Simon Nsubuga Busagwa n'agamba nti Ssebayira yakkiriziganyizza n’oludda oluwaabi mu nkola y’okukkiriza omusango n’oweebwa ekibonerezo ekisaamusaamu.

Ssebayira akkirizza nti nga November 23,2021 mu Kijjura Zooni yasangibwa n’emmundu ekika kya SMG nnamba 56-212009401 nga talina lukusa kuno ssaako amasasi nga byonna bya bamukwata mmundu era talina lukusa kubeera nabyo.

Ebikwata ku musango ebyaleeteddwa Lt.  Alex Mukwana ku lw’oludda oluwaabi bigamba nti nga November 20, 2021 ab’ebyokweinda e Kireka baakwata Ssebayira ku bigambibwa nti yalina emmundu era nga November 23, 2023 baagenda ewuwe mu Kijjura Cell okwaza ngeno gye baasanga emmundu ne magaziini y’amasasi ataano (5) agakola obulungi.

Byonna ebisomeddwa kkooti Ssebayira abikkirzza nti ddala bwe bayali era bituufu kyokka bakkiriziganyizza ne gavumenti okukkiriza omusango olwo asibwe emyaka ena wadde ng’emisango gino gwe gisinga asibwa emyaka 10 mu mateeka.

Ssentebe wa kkooti alagidde akomezebwewo mu kkooti nga December 19, 2023 okumusalira ekibonerezo.

Tags:
Abduh Aziizi Ssebayira
Kijjura
Masindi