Amawulire

Bobi Wine ayogedde Sobbi bye yamugambye

OMUKULEMBEZE wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘ Bobi Wine’ attottodde bye yasembyeyo ok­wogera ne Sobbi n’alaga nti abadde amulaajanira ku bamuyigga omuli n’abamu ku banene mu bitongole by’ebyokwerinda.

Sobbi lwe yasisinkanako Bobi ng'akyayimbira mu kiraabu.jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Wilson w. Ssemmanda

OMUKULEMBEZE wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘ Bobi Wine’ attottodde bye yasembyeyo ok­wogera ne Sobbi n’alaga nti abadde amulaajanira ku bamuyigga omuli n’abamu ku banene mu bitongole by’ebyokwerinda.

Bobi, mu kiwandiiko kye yafu­lumizza yategeezezza nti yasembye okwogerako ne Sobbi emyezi 6 egiyise nga Sobbi yennyini ye yamunoonyezza ng’alina ebimunyiga era ebimutudde ku mutima bye yali ayagala okwetikkula.

“Sobbi yanoonya n’ambuulira obuzibu bwe nti akola ebintu by’akola kubanga talina kyakukola kuba singa tabikola abamukozesa bayinza okumuggyawo”. Bobi bwe yagambye

Bobi yagambye nti Sobbi yali muk­wano gwe gwe yayogeranga naye nga basisinkanye mu lujjudde n’ebbali ng’amunyumiza ne ku ngeri abantu ab’enjawulo gye baali bamukozesa okubabbira n’okubba ettaka ate ne basibamu ye.

Kyokka agamba nti Sobbi yatuuka ekiseera nga takyamuwuliza era lwe yaddamu okumulabako baali mu kiseera ky’okunoonya akalulu mu 2021, nga Sobbi akozesebwa okulo­ndoola n’okuwamba abawagizi ba NUP abaasoba mu 50, nga wano we yakimanyira nti yali yakyuka.

Okusooka Bobi yasoose kun­nyonnyola bwe yasisinkana Sobbi mu myaka gya 1990 mu bifo gye baazannyiranga ebikonde, kyokka nga Sobbi amanyikiddwa nnyo olwa ‘nnako’ ze yalina ng’afunyizza ekikonde

Tags:
Bobi Wine
Sobbi