Bebe Cool ayanjudde muwala we Beata eri abadigize e Kiwatule n'abagamba nti bamwerinde mu kisaawe ky'omuziki

BEBE COOL ayanjulidde abadigize muwala we mu kisaawe ky'endongo n'alabula aba Fangone okumwesonyiwa nti akyali muto  Bebe Cool ayanjudde muwala we Beata eri abadigize e Kiwatule n'abagamba nti bamwerinde mu kisaawe ky'omuziki 

Bebe Cool ng'ayanjula muwala we Beata ku kkono ate wakati muikwano gwa Beata Praise
By Ignatius Kamya
Journalists @New Vision
BEBE COOL ayanjulidde abadigize muwala we mu kisaawe ky'endongo n'alabula aba Fangone okumwesonyiwa nti akyali muto.
Bebe bweyabadde ayimba eggulo mu kivulu kye ekya Tondeka e Kiwatule ng'ekyomulundi gunno yakitadeko erinnya lya Tonkanga Kanga yagambye nti buli mwaka ayagala nnyo okulaba ng'ateeka etoffaali ku kisaawe ky'okuyimba naddala ng'ayanjulira abadigize omuyimbi oba abayimbi abapya.
Yategeezezza nti ku mulundi guno muwala we Beata Ssali ne mukwano gwe Praise abaleese kubanga abalabyemu ekyenjawulo.
Beata ku ddyo ne Praise nga bali ku siteegi

Beata ku ddyo ne Praise nga bali ku siteegi

Yategezeza nti nga bweyamanyisa Rema Namakula eri ensi era bwagenda okukola ne ku Beata nti kubanga amulabye alina edoboozi epitirivu okuzaama erinyuma okuwuliriza.
Muwala we yasabye okuyimbamu akayimba ke aka I will love you Every day nga kanyumidde nnyo abadigize.
Bebe yasinzidde wano n'alabula abavubuka obwedda bagamba nti ba Fangone ababade bamugamba nti omwana akuze afumbirwe nti bamwesonyiwe kuba alina emyaka 16 gyokka ng'akyalina ebyokukola bingi nga tanalowooza kubya kufumbirwa ate n'ekisinga obukulu nti akyasoma.
Bebe era yalaze abadigize omuwala Praise ng'ono naye yagambye nti bamwelinde kubanga agenda kuba mulungi nnyo