Amawulire

Abantu 200 be bayooleddwa mu bikwekweto bya Ssekukkulu mu Kampala n'emiriraano

Abantu abasoba mu 200 be bayoleddwa mu bikwekweto eby'enjawulo ebyakoleddwa.mu Kampala n'emiriraano.

Abantu 200 be bayooleddwa mu bikwekweto bya Ssekukkulu mu Kampala n'emiriraano
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu abasoba mu 200 be bayoleddwa mu bikwekweto eby'enjawulo ebyakoleddwa.mu Kampala n'emiriraano.

Ebikwekweto bino mwe baazuulidde enjaga, amasimu amabbe, ebiso n'ebirala, byakoleddwa e Kawempe, e Kololo okumpi ne Fairway Hotel, Kajjansi, ne mu kibuga wakati.

Ebikwekweto era byakoleddwa mu bifo okumpi n'awaabadde ebivvulu nga batangira abayaaye abaabadde beesomye okubba abadigize.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire agambye nti , abakwate baakusunsulwamu batwalibwe mu kkooti.

Tags: