ABA Team MK Movement nga bakulembeddwa Balaam Barugahara Ateenyi, Hon Micheal Mawanda, Basaliza Araali, omuyimbi Bebe Cool batuuseeko e Namayumba mu maka ga Paasita Aloysious Bujjingo ne beebaza Katonda olw'okumussaako obukuumi n'asimattuka abatemu b'emmundu abasindiridde amasasi ne gatta Richard Muhumuza amanyiddwa nga 'Uncle Richard', mukwano gwa Paasita era abadde omukadde w'ekkanisa ya House of Prayer Ministries International, bwe baabadde batambulira mu mmotoka e Namungoona.
Balaam eyeetisse obubaka bwa Gen. Muhoozi agambye nti Gen anyoleddwa olw'okufa kwa Uncle Richard n'asaasira abooluganda ate era ne yennyamira olw'abatemu abaabadde baluubirira okuttamu musajja we era omuwagizi we lukulwe ate mukwano gwe Paasita Bujjingo, ne yeebaza Katonda okutaasa obulamu bwa Paasita Bujjingo n'okumuwa omukisa ogwokubiri.


Aba Team MK mu maka ga Paasita Bujjingo e Namayumba
Obubaka bwa Gen. Muhoozi ku Twitter, ayagala alipoota ku bazigu bano mu bwangu
" Nate tukubiriza ebitongole by'ebyokwerinda okunoonyereza mu bwangu ku bamenyi b'amateeka bano bavunaanibwe. Abamenyi b'amateeka bano be baani? Ye ADF oba kinmo kibiina ekirala eky'ekisiikirize? Twetaaga eby'okuddamu mu bibuuzo bino. Guno gwe mulundi ogwokubiri nga balumba abawagizi baffe mu myezi 8 egiyise kyokka tewali mumenyi w'amateeka eyali aleeteddwa mu kkooti.
Isma Olaxess yattibwa mu ntiisa n'okutuusa kati lipoota ku nfa tefulumizibwanga. Twebaza Katonda nti Paasita Bujjingo yasimattuse obulumbaganyi buno obw'amaanyi," Gen Muhoozi bwe yawandiise ku mukutu gwe ogwa Twitter.

Gen Muhoozi Kainerugaba