TTABAMIRUKA w’amawanga agafugibwako Bungereza ow’omulundi ogwa 27 aguddwaawo mu butongole e Munyonyo nga yetabiddwako ba sipiika 33 okuva mu mawanga ag'enjawulo.
Ku makya ba sipiika ab’enajawulo, ba minisita, ababaka ba palamenti ku njuyi zombi n’abagenyi abayite okuva mu South Sudan n’omukago gwa East Africa bebetabye ku mukolo guno.
Anite Among omukubiriza wa Sipiika ya Uganda ng'aggulawo ttabamiruka
Mukusooka ba sipiika abaali baakakasa okubaawo ku mukolo guno baali 43 wabula nga omukolo omutongole wegutandiikidde nga bali 33 okuva mu mawanga nga Ghana, India, Kenya, Kingdom of Eswatini, Lesotho, Malaysia, Mauritius, Mozambique, Namibia, Rwanda, Nigeria, Singapore, South Africa, Uganda,Tanzania, Zambia n’amawanga amalala