Kadaga awakanyizza ekya Yunivasite ya Nukuliya okuzimbibwa e Soroti
Jan 08, 2024
OMUMYUKA asooka owa Katikkiro wa Uganda, Rebecca Alitwala Kadaga, awakanyizza ekya yunivasite egenda okutendeka abakugu mu by’amaanyi ga Nukiriya okuzimbibwa mu disitulikiti ye Soroti, ng’ate amayinja agavaamu Nukiriya gali mu Busoga.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUMYUKA asooka owa Katikkiro wa Uganda, Rebecca Alitwala Kadaga, awakanyizza ekya yunivasite egenda okutendeka abakugu mu by’amaanyi ga Nukiriya okuzimbibwa mu disitulikiti ye Soroti, ng’ate amayinja agavaamu Nukiriya gali mu Busoga.
Kadaga era nga ye minisita w’ensonga za East Africa, yagambye nti okuzimba Yunivasite e Soroti buba bulyazaamaanya obw’enkukunala, n’agamba nti ajja kulwana akuuke n’ejjembe.
Yagambya nti tajja kuganya ebyaliwo mu kuzimba ebbibiro ly’amasannyalaze n’olutindo lwe Isimba, bamafia bwe baalemesa ekitebe ky’Abachina ne kizimbibwa ku ludda lwe Bugerere, ng’ate kyalizimbiddwa ku ludda lw’e Busoga.
Bino byabadde mu bubaka obw’okuggalawo omwaka, mwe baalambululidde ebintu Gavumenti by’ekoze e Kamuli mu 2023 n’ebigenda okukolebwa mu 2024 ne 2025. Yagambye nti entegeka za Pulezidenti okutongoza ebidyeri bibiri ebya Bukungu-Kagwara-Kaberamaido ziggyiddwaako engalo
No Comment